Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 3 2018 | Ddala Katonda Akufaako?

DDALA KATONDA AKUFAAKO?

Bwe wagwawo akatyabaga abantu ne bafa oba ne babonaabona, tuyinza okwebuuza obanga ddala Katonda alaba era afaayo. Bayibuli egamba nti:

“Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe, naye Yakuwa yeesambira ddala abo abakola ebintu ebibi.”​—1 Peetero 3:12.

Akatabo kano kalaga engeri Katonda gy’atuyambamu nga tulina ebizibu, ne ky’ajja okukola okumalawo okubonaabona kwonna.

 

“Katonda Yali Ludda Wa?”

Wali ofunye ekizibu ne weebuuza obanga ddala Katonda akufaako?

Katonda Alaba Embeera gy’Olimu?

Kiki ekiraga nti Katonda akufaako nnyo era ayagala okukuyamba?

Ddala Katonda Ategeera by’Oyitamu?

Olw’okuba Katonda amanyi bulungi engeri gye twakolebwamu, ategeera bulungi byonna ebitukwatako.

Ddala Katonda Musaasizi?

Bayibuli eraga nti Katonda alaba bye tuyitamu, abitegeera, era atulumirirwa.

Bwe Tubonaabona Katonda Aba Atubonereza?

Katonda akozesa ebintu ng’obulwadde oba obutyabaga okubonereza abantu olw’ebintu ebibi bye bakola?

Ani Avunaanyizibwa?

Bayibuli eraga ebintu bisatu ebisinga okuviirako abantu okubonaabona.

Katonda Anaatera Okuggyawo Okubonaabona Kwonna

Tumanya tutya nti Katonda anaatera okuggyawo okubonaabona kwonna n’obutali bwenkanya?

Oganyulwa Otya bw’Okimanya nti Katonda Akufaako?

Ebyawandiikibwa bituyamba okukkiririza mu bisuubizo bya Katonda.

Katonda Awulira Atya bw’Alaba ng’Obonaabona?

Ebyawandiikibwa bino bisobola okukuyamba okumanya Katonda bw’awulira bw’alaba abantu nga babonaabona.