OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ddesemba 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Febwali 4 okutuuka nga Maaki 3, 2019.

“Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!”

Ggwe Olusuku lwa Katonda olutegeera otya? Olwesunga?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

‘Eggulu ery’okusatu’ eryogerwako mu 2 Abakkolinso 12:2 litegeeza ki?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga olina by’ojjukira.

Ssa Ekitiibwa mu Ekyo “Katonda ky’Agasse Awamu”

Kiki kyokka omuntu ky’ayinza okusinziirako okugattululwa ne munne n’aba wa ddembe okuddamu okuwasa oba okufumbirwa?

‘Yakuwa Atukoledde eby’Ekisa’

Soma ebikwata ku Jean-Marie Bockaert, eyaweerereza awamu ne mukyala we ku ofiisi y’ettabi ey’omu Bufalansa okumala emyaka egisukka mu 50.

Abavubuka, Omutonzi Wammwe Ayagala Mube Basanyufu

Bintu ki ebina ebisobola okuyamba omuvubuka okufuna essanyu n’okutuuka ku buwanguzi mu bulamu?

Abavubuka Musobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu

Ebigambo ebiri mu Zabbuli 16 bisobola bitya okuyamba abavubuka okufuna essanyu mu bulamu kati ne mu biseera eby’omu maaso?

“Omutuukirivu Ajja Kusanyuka olw’Ebyo Yakuwa by’Amukoledde”

Oyinza otya okusigala ng’oli musanyufu ne bw’oba ng’oyolekagana n’ebintu ebikumalamu amaanyi?

Olukalala lw’Emitwe mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Zuukuka! eza 2018

Ebitundu ebyafulumirwa mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Zuukuka! eza 2018.