OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 1 2019 | Katonda y’Ani?

Manya eby’okuddamu mu bibuuzo mukaaga ebinaakuyamba okusemberera Katonda.

Katonda y’Ani?

Okumanya Katonda gwe mutendera ogusooka okusobola okuba n’enkolagana ennungi naye. Ekyo oyinza kukikola otya?

Erinnya lya Katonda y’Ani?

Obadde okimanyi nti Katonda alina erinnya erimwawulawo?

Engeri za Katonda Ze Ziruwa?

Engeri za Katonda enkulu ze ziruwa?

Biki Katonda by’Akoze?

Kiyinza okukwewuunyisa okumanya ebintu by’akoze abantu basobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.

Biki Katonda by’Ajja Okukola?

Soma omanye embeera bw’eribeera nga tufugibwa gavumenti ya Katonda.

Okumanya Katonda Kiyinza Kukuganyula Kitya?

Mikisa ki abo abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda gye bajja okufuna?

Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda

Laba ebintu bina ebisobola okukuyamba okubeera mukwano gwa Katonda.