OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Febwali 2019

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Apuli 8 okutuuka nga Maayi 5, 2019

Kuuma Obugolokofu Bwo!

Obugolokofu kye ki, era tuyinza tutya okuba abagolokofu?

Noonya Obuwombeefu Osanyuse Yakuwa

Musa ne Yesu bassaawo batya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuwombeefu? Miganyulo ki egiri mu kuba abawombeefu?

Lwaki Osaanidde Okukiraga nti Osiima?

Kiki kye tuyigira ku Yakuwa, Yesu, n’Omusamaliya omugenge ku kulaga nti tusiima?

Okwagala n’Obwenkanya mu Isirayiri ey’Edda

Amateeka ga Musa galaga gatya endowooza Katonda gy’alina ku kwagala n’obwenkanya?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Okutendekebwa Kwe Nnafuna mu Buto Kwannyweza mu by’Omwoyo

Soma ebikwata ku Woodworth Mills, aweerezza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka nga 80.

Obadde Okimanyi?

Amakuŋŋaaniro gaatandikawo gatya?