OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjulaayi 2019

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Ssebutemba 2-29, 2019

Weeteekereteekere Kati Okuyigganyizibwa

Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuba abavumu n’okwaŋŋanga okuyigganyizibwa?

Weeyongere Okuweereza Yakuwa nga Tuwereddwa

Kiki kye tusaanidde okukola singa gavumenti etugaana okusinza Yakuwa?

“Mugende Mufuule Abantu . . . Abayigirizwa”

Lwaki okufuula abantu abayigirizwa kikulu nnyo, era biki ebisobola okutuyamba okutuukiriza obulungi omulimu ogwo?

Okutuuka ku Mitima gy’Abo Abatalina Ddiini

Tuyinza tutya okuyamba abantu abatalina ddiini okwagala Katonda n’okufuuka abayigirizwa ba Kristo?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi Nnyo Gye Nnali Sisuubira

Okuweereza ng’omuminsani mu Afirika kyayamba Manfred Tonak okukulaakulanya obugumiikiriza, obumativu, n’engeri endala ennungi nnyingi.

Ddala Yesu Yanfiirira?

Wali owuliddeko ng’atalina mugaso? Kiki ekiyinza okukuyamba okuvvuunuka enneewulira eyo?