OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 2 2020 | Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Okuva edda n’edda abantu bazze beebuuza ekibuuzo ekyo. Eky’okuddamu tusobola okukifuna okuva mu Bayibuli.

“Obwakabaka Bwo Bujje”—​Essaala Emanyiddwa Abantu Abangi

Bibuuzo ki ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda bye twetaaga okufuna eby’okuddamu tusobole okutegeera amakulu g’essaala eyo?

Lwaki Twetaaga Obwakabaka bwa Katonda?

Abantu bwe bafuga bantu bannaabwe, wabaawo ebizibu.

Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda y’Ani?

Katonda yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli abawerako okuwandiika ebyandituyambye okumanya oyo eyandibadde Kabaka w’Obwakabaka bwe. Mu byafaayo byonna, omuntu omu yekka ye yatuukiriza ebintu ebyo byonna.

Obwakabaka bwa Katonda Bulitandika Ddi Okufuga Ensi?

Abamu ku bagoberezi ba Yesu nabo baali baagala okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Yesu yaddamu atya ekibuuzo kyabwe?

Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?

Yesu yali akimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti yokka ejja okumalawo ebizibu by’abantu ku nsi. Biki Obwakabaka obwo bye bukoze tusobole okubwesiga?

Salawo Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda Kati!

Yesu yakubiriza abagoberezi be okusooka okunoonya Obwakabaka. Oyinza kukikola otya?

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Abantu bangi basaba Obwakabaka bwa Katonda bujje, naye wali weebuuzizzaako nti Obwakabaka bwa Katonda kye ki era nti bunaakola ki?