Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 1 2021 | Lwaki Tusaanidde Okusaba?

Wali osabyeko Katonda n’owulira nti tazzeemu kusaba kwo? Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Bangi basabye Katonda abayambe nga balina ebizibu, naye ebizibu byabwe ne bitavaawo. Mu katabo kano, tugenda kulaba obukakafu obulaga nti Katonda awulira okusaba kwaffe, ensonga lwaki essaala ezimu taziddamu, era n’engeri gye tuyinza okusabamu okusobola okuwulirwa Katonda.

 

Abantu Bye Boogera ku Kusaba

Okusaba kirabo okuva eri Katonda, oba kintu abantu kye bakola okutuusa obutuusa oluwalo?

Ddala Katonda Awulira Essaala Zaffe?

Bayibuli etukakasa nti Katonda awulira essaala zaffe bwe tumusaba mu ngeri entuufu.

Lwaki Essaala Ezimu Katonda Taziddamu?

Bayibuli eraga nti waliwo essaala Katonda z’addamu n’ezo z’ataddamu.

Oyinza Kusaba Otya Okusobola Okuwulirwa Katonda?

K’obe mu kifo ki osobola okwogera ne Katonda ekiseera kyonna, mu ddoboozi eriwulikika oba mu kasirise. Yesu yatuyamba okumanya bye tuyinza okwogerako nga tusaba.

Engeri Okusaba Gye Kuyinza Okukuyambamu

Okusaba kuyinza kukuyamba kutya okugumira ebizibu?

Ddala Katonda Awulira Essaala Zo?

Bayibuli egamba nti bw’osaba Katonda akuwulira, era nti ayagala okukuyamba.