Nkwagala Nnyo
Wanula:
1. Okwagala kiba kirabo
Era kiva eri Katonda.
Bw’ofun’o muntu akwagala,
Kireeta essanyu lingi nnyo.
(CHORUS)
Yakuwa bw’abeera mu bufumbo bwaffe
Buba bunywevu
Nnyo nnyini.
Amagezi g’atuwa gatuyambye nnyo.
Kimanye nze muntu asinga
Okukwagala.
Nkwagala nnyo.
2. Nja kukwagala
Ne mu mbeera enzibu ennyo.
Okwagala kwaffe kun’o kungi
Tewali ayinza ’kkuzikiza;
Kwa lubeerera.
(CHORUS)
Yakuwa bw’abeera mu bufumbo bwaffe
Buba bunywevu
Nnyo nnyini.
Amagezi g’atuwa gatuyambye nnyo.
Kimanye nze muntu asinga
Okukwagala.
Nkwagala nnyo.
(BRIDGE)
Okwagala kirabo—
Kirabo ekiva eri Katonda.
’Kwagala kwa maanyi—‘kuling’o kufa.’
Oli ggumba lyange n’omubiri gwange.
Oli mukyala wange; ggw’o singa bonna.
Nkwagala; siyinza ’kkukyawa.
3. Bino mbyogedde kubanga
Kuno ’kwagala kwa nnamaddala.
Nja kujjukiranga olunaku
Lwe nnakuwasa n’ofuuk’o wange.
Nkwagala.
(CHORUS)
Yakuwa bw’abeera mu bufumbo bwaffe
Buba bunywevu
Nnyo nnyini.
Amagezi g’atuwa gatuyambye nnyo
Kimanye nze muntu asinga
Okukwagala.
Nkwagala nnyo.
Kimanye nze muntu asinga
Okukwagala.