Programu y’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2018

Programu y’Oluŋŋaana Olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa 2018 Olulina Omutwe Ogugamba nti, ‘Beera Muvumu’!

Olwokutaano

Programu y’olunaku luno yeesigamiziddwa ku Yoswa 1:7​—“Beera muvumu era beera wa maanyi nnyo.”

Olwomukaaga

Tuyinza tutya okubuulira Ekigambo kya Katonda awatali kutya?

Ssande

Ebinaabaawo mu maaso bijja kwetaagisa abantu ba Katonda okuba abavumu.

Ebirina Okumanyibwa Abazze mu Lukuŋŋaana

Manya ebikwata ku lukuŋŋaana luno.