Abajulirwa ba Yakuwa Basattulula Amaka oba Bagayamba Okunywera?
Abajulirwa ba Yakuwa tufuba nnyo okunyweza amaka gaffe n’ag’abalala. Tukimanyi nti Katonda ye yatandikawo enteekateeka y’amaka. (Olubereberye 2:21-24; Abeefeso 3:14, 15) Okuyitira mu Bayibuli, atuwa amagezi agayambye abantu mu nsi yonna okuba n’obufumbo obunywevu era obulimu essanyu.
Engeri Abajulirwa ba Yakuwa Gye Banywezaamu Amaka
Tufuba okukolera ku magezi agali mu Bayibuli, kubanga gatuyamba okuba abaami abalungi, abakyala abalungi, era abazadde abalungi. (Engero 31:10-31; Abeefeso 5:22–6:4; 1 Timoseewo 5:8) Amagezi agali mu Bayibuli gayamba n’amaka agalimu abantu abali mu nzikiriza ez’enjawulo okuba abasanyufu. (1 Peetero 3:1, 2) Weetegereze ebyayogerwa abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa, abalina bannaabwe mu bufumbo abaafuuka Abajulirwa ba Yakuwa:
“Emyaka gyaffe omukaaga egyasooka mu bufumbo gyali gijjudde ennyombo. Naye oluvannyuma lwa mukyala wange Ivete okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa, yafuuka omugumiikiriza era yeeyongera okwoleka okwagala. Enkyukakyuka ze yakola zaataasa obufumbo bwaffe.”—Clauir, abeera mu Brazil.
“Omwami wange ayitibwa Chansa bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa saakyagala, kubanga nnali ndowooza nti basattulula amaka. Naye okuva lwe yatandika okuyiga Bayibuli, nkirabye nti Bayibuli etuyambye nnyo mu bufumbo bwaffe.”—Agness, abeera mu Zambia.
Bwe tuba tubuulira, tulaga abantu engeri Bayibuli gy’eyinza okubayambamu
Omu ku bafumbo bw’akyusa eddiini, kireetawo obuzibu mu bufumbo bwabwe?
Kyo kituufu nti oluusi ekyo kibaawo. Ng’ekyokulabirako, mu 1998, lipoota emu eyafulumizibwa ekitongole ekimu ekikola ogw’okunoonyereza ekiyitibwa Sofres yalaga nti omugogo gw’abafumbo gumu ku buli migogo gy’abafumbo 20 be baafuna obutakkaanya obw’amaanyi ng’omu ku bo afuuse Omujulirwa wa Yakuwa.
Yesu yagamba nti abo abafuuka abagoberezi be oluusi bandifunye enjawukana mu maka gaabwe. (Matayo 10:32-36) Munnabyafaayo ayitibwa Will Durant yagamba nti mu bufuzi bwa Rooma, “Abakristaayo baavunaanibwanga ogw’okusattulula amaka,” a era n’abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa leero bavunaanibwa ekintu kye kimu. Naye ekyo kitegeeza nti Abajulirwa ba Yakuwa be baleetawo enjawukana mu maka?
Kkooti ya Bulaaya Ekola ku Ddembe ly’Obuntu bwe yali ewa ensala yaayo ku musango ogwali guvunaanibwa Abajulirwa ba Yakuwa nti basattulula amaka, yagamba nti abatali Bajulirwa ba Yakuwa be batera okuvaako obuzibu, bwe bagaana “okukkiriza n’okuwa ekitiibwa enzikiriza z’ab’eŋŋanda zaabwe Abajulirwa ba Yakuwa.” Kkooti eyo era yagattako nti: “Embeera eyo teri ku Bajulirwa ba Yakuwa bokka; etera okuba mu maka gonna agalimu abantu abali mu nzikiriza ez’enjawulo.” b Kyokka bo Abajulirwa ba Yakuwa ne bwe bakyayibwa olw’ebyo bye bakkiririzaamu, bafuba okukolera ku kubuulirira kuno okuli mu Bayibuli: “Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi. . . . Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna.”—Abaruumi 12:17, 18.
Ensonga lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti balina kuwasa oba kufumbirwa muntu ali mu ddiini yaabwe
Abajulirwa ba Yakuwa bagondera ekiragiro ekiri mu Bayibuli ekikwata ku kuwasa ne ku kufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka,” kwe kugamba, okuwasa oba okufumbirwa omuntu ow’enzikiriza yaabwe. (1 Abakkolinso 7:39) Ekiragiro ekyo tekikoma ku kuba nti kiri mu Bayibuli, naye era okukikolerako kirimu omuganyulo omulala. Ng’ekyokulabirako, ekitundu ekyafulumira mu magazini eyitibwa Journal of Marriage and Family mu 2010 kyagamba nti “abafumbo abali mu ddiini y’emu era nga bye bakkiririzaamu bye bimu, batera okuba n’enkolagana ennungi mu bufumbo bwabwe. c
Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa abafumbo tetubakubiriza kwawukana ne bannaabwe abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Bayibuli egamba nti: “Ow’oluganda yenna bw’aba n’omukyala atali mukkiriza, naye ng’omukyala oyo mwetegefu okuba naye, tamulekanga; n’omukyala alina omwami atali mukkiriza era ng’omwami oyo mwetegefu okuba naye, tamulekanga.” (1 Abakkolinso 7:12, 13) Abajulirwa ba Yakuwa bakolera ku bigambo ebyo.