Abajulirwa ba Yakuwa Balina Bayibuli Eyaabwe?
Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa enkyusa za Bayibuli ezitali zimu. Naye abo abalina Bayibuli eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya mu lulimi lwabwe gye basinga okukozesa, olw’okuba enkyusa eyo ekozesa erinnya lya Katonda, ntuufu, era ekozesa ebigambo ebyangu okutegeera.
Okukozesa erinnya lya Katonda. Abavvuunuzi ba Bayibuli abamu tebawa kitiibwa oyo eyawandiisa Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, enkyusa ya Bayibuli emu eraga amannya g’abantu 70 abaayambako mu kugifulumya. Kyokka, mu nkyusa y’emu eyo baggyamu erinnya ly’oyo eyawandiisa Bayibuli, Yakuwa Katonda.
Ku luuyi olulala, Enkyusa ey’Ensi Empya yazza erinnya lya Katonda mu bifo nkumi na nkumi we lyali mu biwandiiko ebyasookera ddala, naye go amannya g’abo abaagivvuunula tegamanyiddwa.
Ntuufu. Si buli nkyusa ya Bayibuli nti eggyayo obubaka bwennyini obwali mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka. Ng’ekyokulabirako, enkyusa ya Bayibuli emu yavvuunula bw’eti ebigambo ebiri mu Matayo 7:13: “Muyingire mu mulyango omufunda, kubanga omulyango ogugenda mu muliro ogutazikira mugazi n’ekkubo erituukayo lyangu okuyitamu.” Kyokka mu biwandiiko ebyasooka, mulimu ekigambo “kuzikirira,” so si “muliro ogutazikira.” Oboolyawo abavvuunuzi abo baakozesa ebigambo “omuliro ogutazikira” kubanga bakkiriza nti abantu ababi babonyaabonyezebwa emirembe gyonna mu muliro ogutazikira. Naye Bayibuli tewagira njigiriza eyo. N’olw’ensonga eyo, Enkyusa ey’Ensi Empya evvuunula bw’eti olunyiriri olwo: “Muyingire mu mulyango omufunda, kubanga omulyango oguyingira mu kuzikirira mugazi n’ekkubo erituukayo ddene.”
Ebigambo ebyangu okutegeera. Enkyusa ya Bayibuli ennungi terina kukoma ku kuba nga ntuufu, naye era erina okuba ng’ekozesa ebigambo ebyangu okutegeera. Lowooza ku kyokulabirako kino. Mu Matayo 5:3, Yesu yakozesa ebigambo ebitegeeza nti “balina omukisa abaavu mu mwoyo,” bwe biba bivvuunuddwa kigambo ku kigambo. Naye okuva bwe kiri nti ebigambo ebyo tebikola makulu mu Luganda, Ekyusa ey’Ensi Empya yavvuunula olunyiriri olwo mu ngeri ennyangu okutegeera. Egamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”
Ng’oggyeeko okuba nti Enkyusa ey’Ensi Empya ekozesa erinnya lya Katonda, ntuufu era ekozesa ebigambo ebyangu okutegeera, enkyusa ya Bayibuli eyo tetundibwa. N’ekivuddemu, abantu bukadde na bukadde basobola okusoma Bayibuli mu nnimi zaabwe, nga mw’otwalidde n’abo abatandisobodde kugula Bayibuli.