Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebeenyigira mu Mikolo gy’Eggwanga?
Abajulirwa ba Yakuwa bassa ekitiibwa mu gavumenti n’obubonero bwazo obw’eggwanga. Tukkiriza eky’okuba nti abalala bayinza okusalawo okukubira bbendera saluti, oba okuyimba oluyimba lw’eggwanga.
Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa tusalawo obuteenyigira mu mikolo ng’egyo olw’okuba tukkiriza nti gikontana n’enjigiriza za Bayibuli. Tusiima nnyo abalala bwe bassa ekitiibwa mu ebyo bye tukkiriza nga naffe bwe tussa ekitiibwa mu ebyo abalala bye baba basazeewo okukola.
Ebiri mu kitundu kino
Misingi ki egya Bayibuli egizingirwamu?
Enjigiriza za Bayibuli zino ebbiri wammanga kwe twesigama okukola okusalawo:
Katonda yekka gwe tugwanidde okusinza. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.” (Lukka 4:8) Ennyimba z’eggwanga ebiseera ebisinga zirimu ebigambo ebiraga nti omuntu asuubiza okwagala n’okunywerera ku nsi ye okusinga ekintu ekirala kyonna. N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bakitwala nti kikyamu bo okwenyigira mu mikolo ng’egyo.
Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa bawulira nti okukubira bbendera saluti kikolwa kya kusinza, oba kusinza bifaananyi, ekintu Bayibuli ky’egaana. (1 Abakkolinso 10:14) Bannabyafaayo abamu bagamba nti bbendera z’amawanga bubonero bwa ddiini. Munnabyafaayo ayitibwa Carlton J. H. Hayes. a yawandiika nti: “Mwoyo gwa ggwanga gulinga eddiini era akabonero kaayo akasinga obukulu ye bbendera.” Bwe kituuka ku Bakristaayo abaasooka, omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Daniel P. Mannix yagamba nti: “Abakristaayo baagaana . . . okussaddaakira omwoyo ogwakuumanga empula wa [Rooma]. Leero, ekyo kifaananako n’okugaana okukubira bbendera saluti.” b
Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa tetukubira bbendera saluti, tetugyonoona, tetugyookya, oba okukola ekintu kyonna ekityoboola bbendera oba akabonero k’eggwanga akalala konna.
Abantu bonna beenkanankana mu maaso ga Katonda. (Ebikolwa 10:34, 35) Bayibuli egamba nti Katonda “yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu.” (Ebikolwa 17:26) N’olw’ensonga eyo, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti kiba kikyamu okugulumiza ekika ky’abantu ekimu oba eggwanga erimu okusinga amalala gonna. Abantu bonna tubawa ekitiibwa, ka babe nga basibuka wa oba babeera wa.—1 Peetero 2:17.
Watya singa waliwo etteeka lya gavumenti eritulagira okugyenyigiramu?
Abajulirwa ba Yakuwa tebawakanya gavumenti. Tukkiriza nti gavumenti kitundu ‘ky’enteekateeka ya Katonda’ gy’alese okubaawo. (Abaruumi 13:1-7) Ate era tukkiriza nti Abakristaayo basaanidde okugondera ab’obuyinza.—Lukka 20:25.
Watya singa amateeka g’eggwanga gakugamba okukola ekintu Katonda ky’akugaana okukola? Mu mbeera ezimu, kisoboka okusaba gavumenti ekole ennongoosereza mu mateeka ago. c Bwe watabaawo nnongoosereza ekolebwa, Abajulirwa ba Yakuwa mu ngeri ewa abalala ekitiibwa basalawo ‘okugondera Katonda so si bantu.’—Ebikolwa 5:29.
Abajulirwa ba Yakuwa balina oludda lwe bawagira mu by’obufuzi?
Nedda. Abajulirwa ba Yakuwa tebalina ludda lwe bawagira mu bya bufuzi. Bwe tugaana okukubira bbendera saluti, oba okuyimba oluyimba lw’eggwanga, kiba tekiraga nti tuli bannabyabufuzi abaagala enkyukakyuka. Wabula, tuba tugoberera ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku mikolo egyo.