BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
“Nnalina Ebibuuzo Bingi”
Yazaalibwa: 1976
Ensi: Honduras
Ebyafaayo: Yali paasita mu kkanisa
OBULAMU BWANGE BWE BWALI
Nnazaalibwa mu kibuga La Ceiba, eky’omu Honduras, twazaalibwa abaana bataano, nze asembayo era nze mulenzi yekka. Ate era nze kiggala nzekka mu maka gaffe. Twali tubeera mu kifo eky’omutawaana ennyo era twali baavu nnyo. Embeera yeeyongera okutukaluubirira oluvannyuma lwa taata okufiira mu kabenje, nga ndi wa myaka ng’ena.
Maama waffe yakolanga kyonna ky’asobola okutulabirira nze ne bannyinaze, naye oluusi teyabanga na ssente zimala kungulira ngoye. Enkuba bwe yatonnyanga empewo yaampitangamu, kubanga sabanga na ngoye zisobola kumbugumya.
Bwe nnagenda nkula, nnayiga olulimi lwa bakiggala, ekyannyamba okuwuliziganya ne bakiggala abalala. Naye maama wange ne bannyinaze baali tebamanyi lulimi lwa bakiggala, era baakozesanga ebikolwa ebitonotono bye baayiiya okusobola okuwuliziganya nange. Kyokka, maama yali anjagala nnyo era yaankuumanga okuva eri akabi. Ng’akozesa ebikolwa ebitonotono bye yali amanyi, yandabula obuteenyigira mu mize emibi, gamba ng’okunywa sigala n’okunywa ennyo omwenge. Ndi musanyufu okuba nti seenyigira mu mize egyo emibi
Bwe nnali omuto, maama yantwalanga mu Kereziya, naye tewali na kimu kye nnategeeranga kubanga tewali n’omu yantaputiranga mu lulimi lwa bakiggala. Byantama era ne ndekera awo okugenda mu Kereziya nga ndi wa myaka kkumi. Kyokka, nnali nkyayagala okuyiga ebikwata ku Katonda.
Mu 1999, bwe nnali wa myaka 23, nnasisinkana omukazi omulokole eyali ava mu Amerika. Yanjigiriza ebyo ebiri mu Bayibuli, n’olulimi lwa bakiggala olw’omu Amerika. Nnayagala nnyo ebyo bye nnali njiga era ne nsalawo okufuuka paasita. N’olwekyo, nnagenda mu Puerto Rico okusobola okubaawo mu musomo abalokole gwe bassaawo okutendeka bakiggala. Bwe nnakomawo mu La Ceiba mu 2002, nnatandikawo ekkanisa ya bakiggala nga nnyambibwako abamu ku mikwano gyange. Oluvannyuma, Patricia, eyali omu ku mikwano gyange egyo, yafuuka mukyala wange.
Bwe nnali paasita mu kkanisa yaffe, nnayigirizanga mu lulimu lwa bakiggala olw’omu Honduras, nnalaganga ebifaananyi ebiraga ebyo ebyogerwako mu Bayibuli, era ne tubikolamu emizannyo okusobola okuyamba bakiggala okubitegeera. Ate era, nnakyaliranga bakiggala abaabanga mu bubuga obwali butuliraanye okubazzaamu amaanyi era n’okubayamba mu bizibu byabwe. Nnagendako mu Amerika ne mu Zambia ng’omuminsani. Naye ekituufu kiri nti, nnali mmanyi kitono nnyo ku Bayibuli. Nnabagambanga ebyo byokka bye baali baŋŋambye era n’ebyo bye nnategeeranga okuva mu bifaananyi. Mu butuufu, nnalina ebibuuzo bingi.
Lumu, abamu kw’abo abaali mu kkanisa yange baatandika okunjogerako eby’obulimba. Baagamba nti nnali mutamiivu era nti saali mwesigwa eri mukazi wange. Kyammalamu amaanyi era kyannyiiza nnyo. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nze ne Patricia twava mu kkanisa eyo.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE
Abajulirwa ba Yakuwa baali batukyalidde emirundi egiwera, naye nga tetubawuliriza. Kyokka, oluvannyuma lw’okuva mu kkanisa yaffe, Patricia yakkiriza okuyiga Bayibuli n’abafumbo Abajulirwa ba Yakuwa—Thomas ne Liccy. Kyankwatako nnyo okulaba nti wadde nga tebaali bakiggala, baali bamanyi olulimi lwa bakiggala. N’olwekyo, mu kiseera kitono nneegatta ku Patricia okuyiga Bayibuli.
Twayigira emirundi egiwera nga tukozesa vidiyo ezaali mu lulimi lwa bakiggala olw’omu Amerika. Naye abamu ku mikwano gyaffe bwe baagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera bantu, twalekera awo okuyiga Bayibuli. Wadde nga Thomas yampa obukakafu obulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa tebagoberera bantu, saamukkiriza.
Oluvannyuma lw’emyezi mitono, Patricia bwe yalwala obulwadde obw’okwennyamira, yasaba Katonda addemu aleete Abajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, muliraanwa waffe eyali Omujulirwa wa Yakuwa yakyalira Patricia era n’amusuubiza nti yali agenda kugamba Liccy amukyalire. Liccy yakiraga nti mukwano wa nnamaddala. Yakyaliranga Patricia buli wiiki okusobola okumuzzaamu amaanyi era n’okuyiga naye Bayibuli. Wadde kyali kityo, nnasigala mbuusabuusa Abajulirwa ba Yakuwa.
Mu 2012, Abajulirwa ba Yakuwa beenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okulaga abantu vidiyo, Wandyagadde okumanya amazima? eyali mu lulimi lwa bakiggala olw’omu Honduras. Liccy yatuleetera vidiyo eyo. Bwe nnagiraba, nneewuunya nnyo okukimanya nti, nnyingi ku njigiriza ze nnali njigiriza, gamba ng’omuliro ogutazikira, n’omwoyo ogutafa, tezaali mu Bayibuli.
Wiiki eyaddako, nnagenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa okwogerako ne Thomas. Nnamugamba nti nnali njagala kuyigiriza bakiggala amazima agali mu Bayibuli, naye si ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nnali njagala kuggulawo kkanisa endala eya bakiggala. Thomas yansiima olw’okuddamu okwagala amazima naye n’andaga Abeefeso 4:5, awalaga nti tulina okuba obumu mu kibiina Ekikristaayo eky’amazima.
Ate era Thomas yampa vidiyo, Jehovah’s Witnesses—Faith in Action, Part 1: Out of Darkness, eyali mu lulimi lwa bakiggala olw’Abamerika. Vidiyo eyo yandaga engeri abasajja abamu gye beekenneenyamu Bayibuli, okusobola okutegeera amazima agakwata ku njigiriza ezisookerwako. Bwe nnali ndaba vidiyo eyo, nnalaba ng’abasajja abo baalinga nze. Okufaananako bo, nange nnali noonya amazima. Vidiyo eyo yankakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza amazima kubanga bye bayigiriza babyesigamya ku Bayibuli. N’olwekyo, nnaddamu okuyiga Bayibuli, era mu 2014, nze ne Patricia twabatizibwa ng’abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU
Njagala nnyo ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa kubanga bayonjo nga Katonda bwali omuyonjo. Bayonjo mu njogera era ne mu ngeri gye bakolaganamu n’abalala. Bantu ba mirembe era bazziŋŋanamu amaanyi. Abajulirwa ba Yakuwa bali bumu era bonna bayigiriza amazima ge gamu agali mu Bayibuli, ka babe nga bali mu nsi ki oba nga boogera lulimi ki.
Kyansanyusa nnyo okuyiga ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Ng’ekyokulabirako, nnayiga nti Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Ayagala nnyo bakiggala era n’abo abatali bakiggala. Okwagala Katonda kw’andaga nkutwala nga kwa muwendo. Ate era, nnayiga nti ensi ejja kufuuka olusuku lwa Katonda olulabika obulungi, era nti tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo nga tuli balamu bulungi. Nneesunga nnyo okulaba ng’ebyo byonna bituukiriziddwa!
Nze ne Patricia twagala nnyo okubuulira bakiggala ebyo ebiri mu Bayibuli. Kati tuyiga Bayibuli n’abamu ku abo abaali mu kkanisa yaffe. Naye kati sikyalina bibuuzo bikwata ku ebyo bye njigiriza, nga bwe kyali nga nkyali paasita. Kyaddaaki, nnafuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnalina, bwe nnasoma Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.