Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Nnalina Obusungu Bungi”

“Nnalina Obusungu Bungi”
  • Yazaalibwa: 1975

  • Ensi: Mexico

  • Ebyafaayo: Yalina Obusungu Bungi; Yasibibwako mu Kkomera

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

 Nnazaalibwa mu San Juan Chancalaito, akabuga akatono akasangibwa mu Chiapas, e Mexico. Tuli ba ggwanga lya Bacolo abaava mu Bamaya. Twazaalibwa abaana 12, era nze ow’oku ttaano. Bwe nnali nkyali muto, nze ne baganda bange twayiganga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Eky’ennaku, mu myaka gyange egy’obuto saakolera ku magezi ga Bayibuli.

 We nnawereza emyaka 13, nnali nkozesa ebiragalalagala era nga nziba ebintu by’abantu. Mu myaka egyo, nnava awaka, era saatereeranga mu kifo kimu. Bwe nnali wa myaka 16, nnatandika okukola mu nnimiro y’enjaga. Nnakolerayo omwaka nga gumu, naye lumu ekiro, bwe twali tusaabaza enjaga mu lyato, abasajja abaalina emmundu abaali mu kibinja ekirala ekyali kikola mu njaga baatulumba. Nnawona okukubwa amasasi bwe nnagwa mu mazzi ne mpuga okudda ku ludda olulala. Oluvannyuma nnaddukira mu Amerika.

 Bwe nnali mu Amerika, nneeyongera okukukusa enjaga era nnafuna ebizibu bingi. Bwe nnali wa myaka 19, nnasibibwa mu kkomera nga banvunaana ogw’okubba n’ogw’okugezaako okutta omuntu. Bwe nnali mu kkomera, nneegatta ku kibinja ky’abayaaye era ne nneeyongera okukola ebikolwa ebirala eby’obukambwe. N’ekyavaamu, ab’obuyinza bantwala mu kkomera eryali lisinga okubaamu obukuumi erisangibwa mu Lewisburg, eky’omu Pennsylvania.

 Bwe nnali mu kkomera eryo, enneeyisa yange yeeyongera kwonooneka bwonoonesi. Olw’okuba nnalina ttatu z’abayaaye, kyannyanguyira okwegatta ku kibinja kye kimu ekyali mu kkomera eryo. Nneeyongera okuba omukambwe era nga buli kiseera nneenyigira mu kulwana. Lumu nneenyigira mu kulwanagana okwaliwo wakati w’ebibinja by’abayaaye okwali mu luggya lwe kkomera. Twalwanagana nnyo nga tukozesa emiggo egikozesebwa mu muzannyo gwa baseball n’ebyuma ebikozesebwa mu dduyiro. Abakuumi baatukubamu omukka ogubalagala okusobola okutukkakkanya. Oluvannyuma lw’ekyo, abakuumi baanteeka mu kkomera ery’enjawulo omukuumirwa abasibe abasingayo okuba ab’obulabe. Nnali wa busungu bungi era nga nkozesa ebigambo ebibi. Kyannyanguyiranga okukuba abantu. Mu butuufu, nnanyumirwanga nnyo okukikola. Saalumizibwanga mutima olw’ebyo bye nnakolanga .

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

 Mu kkomera eryo, nnabeeranga mu kaduukulu kumpi olunaku lwonna, n’olwekyo nnatandika okusoma Bayibuli okusobola okutwaza ku budde. Oluvannyuma omukuumi yampa akatabo, Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. a Bwe nnali nsoma akatabo ako, nnajjukira ebintu bingi bye nnayiga nga nkyali muto bwe nnali nkyasoma Bayibuli n’Abajulirwa. Oluvannyuma, nnafumiitiriza ku ngeri obulamu bwange gye bwali bwonooneseemu olw’okuba nnali muntu wa busungu. Ate era nnalowooza ne ku b’eŋŋanda zange. Olw’okuba bannyinaze babiri baali bafuuse Bajulirwa ba Yakuwa, ekirowoozo kyanzijira nti, ‘Bagenda kubeerawo emirembe gyonna.’ Oluvannyuma nneebuuza nti ‘Lwaki nange sisobola?’ Ekyo kye kiseera we nnamalirira okukola enkyukakyuka.

 Kyokka, nnali nkimanyi nti nneetaaga obuyambi okusobola okukola enkyukakyuka. N’olwekyo, nnasooka ne nsaba Yakuwa Katonda ne mwegayirira annyambe. Oluvannyuma nnawandiikira ofiisi y’ettabi eri mu Amerika ne nsaba okuyigirizibwa Bayibuli. Ofiisi y’ettabi yakola enteekateeka ekibiina ekyali okumpi kisobole okunnyamba. Mu kiseera ekyo, nnali sikkirizibwa kufuna bagenyi batali ba ŋŋanda zange, n’olwekyo, Omujulirwa okuva mu kibiina ekyo yatandika okunsindikira amabaluwa agazzaamu amaanyi era n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Ekyo kyannyamba okweyongera okwagala okukola enkyukakyuka.

 Nnakola enkyukakyuka ey’amaanyi bwe nnasalawo okuva mu kibinja ky’abayaaye kye nnali mmazeemu emyaka mingi. Eyali akulira ekibinja ekyo naye yali mu kkomera lye nnalimu, n’olwekyo nnamutuukirira mu kiseera eky’okuwummulamu ne mugamba nti njagala kufuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Nneewuunya nnyo bwe yaŋŋamba nti: “Bw’oba ng’okitegeeza, kikole. Sisobola kuyingirira Katonda. Naye bw’oba oyagala bwagazi kuva mu kibinja kyaffe, omanyi ebijja okuvaamu.”

 Mu myaka ebiri egyaddirira, abakuumi be kkomera baalaba enkyukakyuka ze nnali nkola. N’ekyavaamu, beeyongera okunneesiga. Ng’ekyokulabirako, abakuumi baalekera awo okunteekako empingu bwe baabanga bamperekera okuva mu kaduukulu okugenda okunaaba. Omu ku bakuumi yantuukirira n’aŋŋamba nti nneeyongere mu maaso okukola enkyukakyuka ze nnali nkola. Mu butuufu, ab’obuyinza mu kkomera bankyusa ne banteeka mu kkomera eryalina obukuumi obutono eryali okumpi ne kkomera eddene, mu mwaka gwange ogwali gusembayo. Mu 2004, oluvannyuma lw’okumala emyaka 10 mu kkomera, nnateebwa era ne nkomezebwawo e Mexico mu bbaasi ye kkomera.

 Amangu ddala nga nnaakatuuka mu Mexico, nnanoonya Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnagenda mu lukuŋŋaana lwange olwasooka nga nnyambadde yunifoomu y’abasibe—lwe lugoye lwokka olulungi lwe nnalina. Wadde nga nnali nnyambadde bw’entyo, Abajulirwa bannyaniriza bulungi. Bwe nnalaba okwagala kwe baalina, nnawulira nga ndi mu Bakristaayo ab’amazima. (Yokaana 13:35) Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, abakadde baankolera nteekateeka nsobole okuyigirizibwa Bayibuli. oluvannyuma lw’omwaka gumu, nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, nga Ssebutemba 3, 2005.

 Mu Jjanwali 2007, nnafuuka omubuulizi ow’ekiseera kyonna, nga mmala essaawa 70 buli mwezi nga njigiriza abantu Bayibuli. Mu 2011, nnagenda mu Ssomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina (kati eriyitibwa, Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka). Essomero eryo lyannyamba nnyo okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe nnalina mu kibiina.

Kati nnyumirwa okuyigiriza abalala okuba ab’emirembe

 Mu 2013, nnawasa mukyala wange omwagalwa, Pilar. Agamba nti kimuzibuwalira okukkiriza ebintu bye mugamba ebikwata ku bulamu bwange obw’emabega. Siddangamu kweyisa nga bwe nnali nneeyisa emabega. Nze ne mukyala wange tukkiriza nti kye ndi leero bukakafu obulaga nti Bayibuli erina amaanyi agasobola okukyusa obulamu bw’abantu.—Abaruumi 12:2.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

 Mpulira nti ebigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 19:10 bikwata ku nze. Yagamba nti: “[Nnajja] kunoonya na kulokola abo abaabula.” Sikyawulira ng’eyabula era sikyalumya bantu. Olw’okuba nnasoma Bayibuli, nnina ekigendererwa mu bulamu, nkolagana bulungi n’abalala, n’ekisinga obukulu, nnina enkolagana ennungi n’Omutonzi wange, Yakuwa.

[OBUGAMBO OBULI WANSI]

a Akatabo ako kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa naye kati tekakyafulumizibwa. Kati akatabo ke bakozesa okuyigiriza abantu Bayibuli kayitibwa Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?