BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
“Nnali Nneesimira Entaana”
Yazaalibwa: 1978
Ensi: El Salvador
Ebyafaayo: Yali mu Kibinja ky’Abayaaye Abaali Abakambwe Ennyo
OBULAMU BWANGE BWE BWALI
“Bw’oba nga ddala oyagala kuyiga ebikwata ku Katonda, nywerera ku Bajulirwa ba Yakuwa.” Nneewuunya nnyo okuwulira ebigambo ebyo. Mu kiseera ekyo, nnali nnaakamala ekiseera kitono nga njiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Naye okusobola okutegeera engeri ebigambo ebyo gye byankwatako, ka nsooke mbabuulireko katono ku bikwata ku bulamu bwange.
Nnazaalibwa mu kabuga Quezaltepeque, akasangibwa mu El Salvador. Baatuzaala abaana 15 era nze ow’omukaaga. Bazadde bange baagezaako okunjigiriza okuba omwesigwa era n’okugondera amateeka. Okugatta ku ekyo, Leonardo n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala babiri bajjanga okutuyigiriza ebikwata ku Bayibuli. Naye saakoleranga ku ebyo bye baanjigiriza era nnasalangawo bubi. Bwe nnali wa myaka 14, nnatandika okunywa omwenge era n’okukozesa ebiragalalagala nga ndi ne mikwano gyange ab’oku ssomero. Baagenda bawanduka mu ssomero omu ku omu, ne beegatta ku kibinja ky’abayaaye, era nange ne ngoberera ekyokulabirako kyabwe ekibi. Twabeeranga ku nguudo nga tusabiriza ssente, era twabbanga okusobola okufuna ssente ze twakozesanga okugula ebiragalalagala.
Ekibinja ky’abayaaye kye kyafuuka ab’eŋŋanda zange. Nnali ndowooza nti nnina okuba omwesigwa gye bali. Ng’ekyokulabirako, lumu omu ku abo abaali mu kibinja kyaffe bwe yali akozesezza ebiragalalagala, yalwanagana n’omu ku baliraanwa bange. Bwe baali balwana, muliraanwa wange yasinza mukwano gwange amaanyi era n’akubira poliisi essimu. Nnawulira obusungu bungi, ne nkwata ekyuma ne ntandika okukubakuba emmotoka ya muliraanwa wange nga njagala ate mukwano gwange. Muliraanwa wange yanneegayirira okulekera awo okukubakuba emmotoka ye, naye ne ŋŋaana okumuwuliriza era emmotoka ye ne njonoona yonna.
Bwe nnali wa myaka 18, ekibinja kyaffe kyalwanagana n’abasirikale. Bwe nnali nnaatera okukasuka bbomu gye twakola, yabalukira mu ngalo zange, era simanyi ngeri ekyo gye kyabaawo. Nzijukira kulaba mukono gwange nga gubetentuse—oluvannyuma ne nzirika. Bwe nnadda engulu nga ndi mu ddwaliro, nnakitegeera nti omukono gwange ogwa ddyo gwali gukutuseeko, ng’okutu kwange okwa ddyo tekukyawulira era n’eriiso lyange erya ddyo lyali terikyasobola kulaba bulungi.
Wadde nga nnali nfunye ebisago ebyo, oluvannyuma lw’okunsiibula mu ddwaliro, nnaddayo mu kibinja ky’abayaaye. Kyokka nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lw’ebyo, abasirikale bankwata ne bansiba mu kkomera. Bwe nnali mu kkomera, enkolagana yange n’abo abaali mu kibinja ky’abayaaye yeeyongera okunywera. Twamalanga olunaku lwonna nga tukolera wamu ebintu—okuva mu kiseera eky’okulya eky’enkya, we twatandikira okunywa enjaga, okutuusa lwe twebakanga.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE
Bwe nnali mu kkomera, Leonardo yankyalira. Bwe twali twogera, yasonga ku ttatu eyali ku mukono gwange ogwa ddyo. Yambuuza nti: “Omanyi obutonyeze buno obusatu obwa ttatu kye butegeeza?” Nnamuddamu nti: “Nkimanyi, butegeeza okwetaba, ebiragalalagala, n’okuzina.” Naye Leonardo yanziramu nti: “Nze ŋŋamba butegeeza eddwaliro, ekkomera, n’okufa. Waliko mu ddwaliro, era kati oli mu kkomera. Omanyi ekiddako.”
Leonardo kye yaŋŋamba kyankanga. Yali mutuufu. Nnali nneesimira ntaana olw’engeri gye nnali ntambuzaamu obulamu bwange. Leonardo yansaba okunjigiriza Bayibuli, era ne nzikiriza. Bye nnayiga okuva mu Bayibuli byandeetera okukyusa obulamu bwange. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33) N’olwekyo, ekintu kye nnalina okusooka okukola kwe kufuna emikwano emipya. Ekyo okusobola okukikola, nnalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibinja ky’abayaaye, era ne ntandika okugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ezaabanga mu kkomera. Mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, nnasisinkanayo omu ku basibe ayitibwa Andrés, eyali yabatirizibwa mu kkomera ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Yampita okuliirako awamu naye eky’enkya. Okuva ku olwo, saddamu kutandika lunaku nga nywa njaga. Mu kifo ky’ekyo, nze ne Andrés twakubaganyanga ebirowoozo ku kyawandiikibwa buli ku makya.
Ab’omu kibinja ky’abayaaye baalabirawo enkyukakyuka ze nnali nkola. N’ekyavaamu, omu ku abo abaali bakulira ekibinja ky’abayaaye yaŋŋamba nti ayagala kwogerako nange. Nnatya nnyo. Nnali simanyi kye yali agenda kunkola bwe yanditegedde ebigendererwa byange, kubanga si kyangu kuva mu kibinja ky’abayaaye. Yaŋŋamba nti: “Tukirabye nti tokyajja mu nkuŋŋaana zaffe, naye ogenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Kiki ky’oteekateeka okukola?” Nnamugamba nti nnali njagala kweyongera kuyiga Bayibuli era n’okukyusa obulamu bwange. Kyanneewuunyisa bwe yaŋŋamba nti ye ne banne bajja kumpa ekitiibwa singa mbakakasa nti ddala njagala kubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma yaŋŋamba nti: “Bw’oba nga ddala oyagala kuyiga ebikwata ku Katonda, nywerera ku Bajulirwa ba Yakuwa. Tukusuubira okulekera awo okukola ebintu ebibi. Nkuyozayoza. Okutte ekkubo ettuufu. Abajulirwa ba Yakuwa basobolera ddala okukuyamba. Banjigirizaako Bayibuli bwe nnali mu Amerika, era abamu ku b’eŋŋanda zange Bajulirwa ba Yakuwa. Totya. Weeyongere mu maaso.” Nnali nkyalimu okutya, naye mu kiseera kye kimu, nnali musanyufu. Nneebaza Yakuwa Katonda mu mutima gwange. Nnawulira ng’ekinyonyi kye batadde okuva mu kayumba, era nnategeera ebigambo bya Yesu ebigamba nti: “Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.”—Yokaana 8:32.
Kyokka, abamu ku abo abaali mikwano gyange, bangezesa nga bampa ebiragalalagala. Kyo kituufu nti ebiseera ebimu nnekkiriranyanga. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, era n’okusaba ennyo, nnasobola okulekayo emize emibi.—Zabbuli 51:10, 11.
Oluvannyuma lw’okusumululwa mu kkomera, bangi baali balowooza nti nja kuddamu okutambulira mu bulamu bwe nnalimu, naye ekyo saakikola. Mu kifo ky’ekyo, nnaddangayo mu kkomera okubuulira abasibe abalala ebyo bye nnali njize okuva mu Bayibuli. Kyaddaaki, abo abaali mikwano gyange baali bakakafu nti nnali nkyusizza obulamu bwange. Eky’ennaku, ekyo si bwe kyali eri abo abaali abalabe bange.
Lumu bwe nnali mbuulira, nze ne munnange gwe nnali mbuulira naye twetooloolwa ekibinja ky’abayaaye abaali bakutte ebissi nga baagala kunzita. Gwe nnali mbuulira naye yabannyonnyola mu bukkakkamu naye nga muvumu nti nnali sikyali mu kibinja ky’abayaaye. Bwe yali ayogera nabo, nnafuba okusigala nga ndi mukkakkamu. Bwe baamala okunkuba n’okundabula obutaddamu kugenda mu kitundu ekyo, bassa wansi ebissi byabwe ne batuleka ne tugenda. Mu butuufu, Bayibuli yali ekyusizza obulamu bwange. Emabegako nnandibadde ngezaako okwesasuza. Naye ku olwo nnakolera ku magezi agali mu 1 Abassessalonika 5:15. Awagamba nti: “Mufube okulaba nti tewali n’omu ku mmwe akola omulala ekibi olw’okuba amukoze ekibi, naye buli omu aluubirirenga okukolera munne ebirungi era n’okubikolera abalala bonna.”
Okuva lwe nnafuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, nfuba okuba omusajja omwesigwa. Naye tekibadde kyangu. Kyokka, olw’obuyambi bwa Yakuwa, n’olw’okukolera ku magezi agali mu Bayibuli, era n’olw’obuyambi bwa mikwano gyange emipya, nsobodde okutuuka ku buwanguzi. Saagala kuddamu kutambulira mu bulamu bwe nnalimu emabega.—2 Peetero 2:22.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU
Nnali musajja mukambwe era nga nnina obusungu bungi. Ndi mukakafu nti nnandibadde siri mulamu kati singa nnasigala ntambulira mu bulamu obwo. Bye nnayiga okuva mu Bayibuli byakyusa obulamu bwange. Nnalekera awo okwenyigira mu mize emibi. Njize okuba mu mirembe n’abo abaali abalabe bange. (Lukka 6:27) Era kati nnina emikwano eginnyamba okukulaakulanya engeri ennungi. (Engero 13:20) Kati ndi musanyufu era nnina ekigendererwa mu bulamu, era mpeereza Katonda eyansonyiwa ebibi byonna bye nnakola.—Isaaya 1:18.
Mu 2006, nnagenda mu ssomero eritendeka ababuulizi Abakristaayo abali obwannamunigina. Oluvannyuma lw’emyaka mitono, nnawasa mukyala wange omwagalwa, era tukuliza wamu muwala wange. Kati obudde bwange obusinga mbumala njigiriza abalala amagezi agali mu Bayibuli agannyamba. Ate era mpeereza ng’omukadde mu kibiina, era ngezaako okuyamba abakyali abato okwewala okukola ensobi ze nnakola bwe nnali nkyali wa myaka gyabwe. Mu kifo ky’okwesimira entaana, kati nkolerera obulamu obutaggwaawo Katonda bw’asuubiza mu Bayibuli.