Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Obulamu Bwange Bwali Bwonoonese

Obulamu Bwange Bwali Bwonoonese
  • Yazaalibwa: 1971

  • Ensi: Tonga

  • Ebyafaayo: Yali akozesa ebiragalalagala, era yasibibwako mu kkomera

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

 Tuzaalibwa mu Tonga, ensi erimu ebizinga nga 170 era esangibwa mu bukiikaddyo bw’oguyanja Pacific. Mu Tonga tetwali bulungi mu byanfuna, tewaaliyo masannyalaze oba emmotoka. Naye awaka twalina amazzi n’enkoko entonotono. Mu luwummula nze ne baganda bange babiri twayambangako taata mu nnimiro gye twalimanga amatooke, endagu, amayuuni, ne muwogo. Emmere eyo yagitundanga n’asobola okuyimirizaawo amaka gaffe era yakolanga n’emirimu emirala emitonotono. Okufaananako abantu abalala bangi ababeera ku bizinga bino, amaka gaffe gaali gassa nnyo ekitiibwa mu Bayibuli, era twagendanga mu kkanisa obutayosa. Wadde kyali kityo, twalowooza nti engeri yokka eyinza okutusobozesa okuba n’obulamu obulungi, kwe kusengukira mu nsi eri obulungi mu by’enfuna.

 Bwe nnali wa myaka 16, kojja wange yakola enteekateeka okutusengula era n’atutwala mu California, eky’omu Amerika. Tekyatwanguyira kumanyiira buwangwa bwayo obwali obupya gye tuli! Wadde ng’eby’enfuna byaffe byalongooka, twali tubeera mu kitundu eky’abantu abaavu awaali wajjudde obumenyi bw’amateeka, ebikolwa eby’obukambwe, n’okukozesa ebiragalalagala. Ekiro twateranga okuwulira amasasi, era abasinga obungi ku baliraanwa baffe baatyanga nnyo ebibinja by’abayaaye. Abantu bangi baatambulanga ne mmundu okusobola okwerinda oba okugonjoola obutategeeragana. Nkyalina essasi mu kifuba kyange lye nnafuna okuva ku butategeeragana obumu obwaliwo.

 Ku ssomero, nnayagalanga okubeera ng’abaana abalala. Mpolampola nneeyongera okwenyigira mu by’amasanyu, okwekatankira omwenge, ebikolwa eby’obukambwe, n’okukozesa ebiragalalagala. Oluvannyuma lw’ekiseera nnafuna omuze ogw’okunywa enjaga. Okusobola okufuna ssente ez’okugula ebiragalalagala, nnatandika okubba. Wadde ng’ab’eŋŋanda zange bajjumbiranga nnyo okugenda mu kkanisa, tebampa bulagirizi obwandinnyambye obutekkiriranya nga mpikiriziddwa okukola ebintu ebibi. Emirundi mingi nnasibibwanga olw’ebikolwa eby’obukambwe bye nnakolanga. Obulamu bwange bwali bweyongera bweyongezi kwonooneka! Era oluvannyuma nnakomekkereza ndi mu kkomera.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

 Lumu mu 1997, bwe nnali mu kkomera, omusibe omulala yakiraba nti nnali nkutte Bayibuli. Yali Ssekukkulu, ekiseera Abatonga kye batwala okuba nga kitukuvu nnyo. Yambuuza obanga nnali mmanyi Bayibuli ky’eyogera ku kuzaalibwa kwa Kristo, naye nnali sikimanyi. Yandaga Bayibuli ky’eyogera ku kuzaalibwa kwa Yesu, era nnakiraba nti obulombolombo bungi obukolebwa ku Ssekukkulu tebuli mu Byawandiikibwa. (Matayo 2:1-12; Luka 2:5-14) Kyanneewuunyisa nnyo era nneebuuza ebirala Bayibuli by’eyogera. Omusajja oyo yali agendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ezibaawo buli wiiki mu kkomera, era nange nnasalawo okumwegattako. Baali bakubaganya ebirowoozo ku kitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa. Wadde nga nnategeera kitono nnyo ku ebyo bye baali boogera, nnakiraba nti byonna bye baali bayigiriza byali biva mu Bayibuli.

 Abajulirwa ba Yakuwa bwe bansaba okunjigiriza Bayibuli, nnakkiriza n’essanyu. Omulundi gwange ogusooka, nnayiga ku kisuubizo ekiri mu Bayibuli ekikwata ku lusuku lwa Katonda olujja okubeera ku nsi. (Isaaya 35:5-8) Nnakirabirawo nti okusobola okusanyusa Katonda, nnali nneetaaga okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange. Nnakiraba nti Yakuwa Katonda tagenda kunzikiriza kubeera mu lusuku lwe, nga nkyenyigira mu mize emibi. (1 Abakkolinso 6:9, 10) N’olwekyo, nnamalirira okufuga obusungu bwange, okulekera awo okunywa sigala, n’okunywa ennyo omwenge era n’obutaddamu ku kozesa biragalalagala.

 Mu 1999, bwe nnali sinnaba kumalayo kibonerezo kya mpeebwa, ab’obuyinza baankyusa ne bantwala mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamu. Okumala ebbanga erissuka mu mwaka gumu, nnali siwuliziganya na Bajulirwa ba Yakuwa. Naye nnali mumalirivu okweyongera okukola enkyukakyuka. Mu mwaka gwa 2000, gavumenti yasazaamu ebiwandiiko byange ebyali binzikiriza okubeera mu Amerika, era ne nkomezebwawo mu Tonga.

 Bwe nnali mu Tonga, nnanoonya Abajulirwa ba Yakuwa era ne baddamu okunjigiriza Bayibuli. Nnayagala nnyo bye nnali njiga, era nneewuunya nnyo bwe nnalaba ng’Abajulirwa ba Yakuwa ababeera ku kizinga, byonna bye bayigiriza babyesigamya ku Byawandiikibwa, ng’Abajulirwa ba Yakuwa ababeera mu Amerika bwe baakola.

 Taata wange yali amanyiddwa nnyo mu kitundu olw’okuba yali alina ekifo ekya waggulu mu kkanisa. N’olwekyo, mu kusooka ab’eŋŋanda zange baasoberwa era ne banyiigira olw’okuba nnali nkolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa. Kyokka oluvannyuma bazadde bange baasanyuka olw’okuba amagezi agali mu Bayibuli gaali gannyamba okutereeza obulamu bwange.

Okufaananako abasajja bangi Abatonga, nnamalanga essaawa nnyingi buli lunaku nga nywa kava

 Emu ku nkyukakyuka ezanzibuwalira okukola, yali ekwatagana n’eky’okunywa ekimu ekitera okukozesebwa obubi mu buwangwa bwaffe. Abasajja bangi Abatonga bamala essaawa nnyingi buli wiiki nga banywa kava, eky’okunywa ekigonza omubiri ekikolebwa mu mirandira gya kaamulali. Kati olw’okuba nnali nkomyewo mu nsi yange, nnatandika okuba n’empisa ey’okugendanga mu kirabo gye banywera kava kumpi buli kiro, era nnanywanga kava okutuusa lwe nnatamiiranga ne mba nga sikyategeera. Ekimu ku bizibu bye nnalina kyali nti nnakolagananga n’emikwano egitassanga kitiibwa mu mitindo gya Bayibuli. Oluvannyuma, nnayambibwa ne nkiraba nti enneeyisa yange yali tesanyusa Katonda. Nnakola enkyukakyuka nsobole okusiimibwa Katonda n’okufuna emikisa gye.

 Nnatandika okugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa zonna. Okukolagana n’abantu abafuba okusanyusa Katonda kyannyambanga okuziyiza ebikemo. Mu 2002, nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

 Ŋŋanyuddwa mu bugumiikiriza bwa Katonda, Bayibuli bw’eyogerako ng’egamba nti: “Yakuwa . . . abagumiikiriza mmwe, kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peetero 3:9) Mu butuufu yandibadde yazikiriza dda enteekateeka y’ebintu eno embi, naye agireseewo okumala ekiseera ng’ayagala abantu abalinga nze okuba n’enkolagana ennungi naye. Ndowooza asobola okunkozesa okuyamba abalala okukola kye kimu.

 Yakuwa yannyamba ne ndekera awo okwonoona obulamu bwange. Sikyabba bintu by’abalala okusobola okufuna ssente ez’okugula ebiragalalagala. Mu kifo ky’ekyo, ngezaako okuyamba baliraanwa bange nabo bafuuke mikwano gya Yakuwa. Olw’okukolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnafuna mukyala wange omwagalwa, Tea. Ffe ne mutabani waffe, tulina essanyu mu maka. Ffenna tukolera wamu okuyigiriza abalala Bayibuli ky’eyogera ku ssuubi ery’okuba n’obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.