BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
“Sikyali Muddu wa Bikolwa bya Bukambwe”
Yazaalibwa: 1956
Ensi: Canada
Ebyafaayo: Yali yaggwaamu amaanyi, yeenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu, n’ebikolwa eby’obukambwe
OBULAMU BWANGE BWE BWALI
Nnazaalibwa mu kibuga Calgary mu saza lye Alberta, erya Canada. Bwe nnali nkyali muwere, bazadde bange baagattululwa, era nze ne maama ne tugenda okubeera mu maka ga bazadde be. Bajjajja bange baali batwagala nnyo era nnali mwana musanyufu nnyo. Nkyajjukira emyaka egyo egy’obuto bwe nnali omusanyufu.
Bwe nnali wa myaka musanvu, obulamu bwange bwakaluba, maama wange bwe yaddamu okufumbirwa taata era ne tusengukira mu St. Louis, Missouri, eky’omu Amerika. Oluvannyuma nnakizuula nti taata wange mukambwe. Ng’ekyokulabirako, bwe nnava ku ssomero omulundi gwange ogwasooka, yakizuula nti abaana baali bankyokoozezza ne sibaddiza. Yasunguwala nnyo era n’ankuba nnyo okusinga abaana ku ssomero bwe bankuba! Ekyo kyanjigiriza essomo era ne ntandika okulwana n’abaana abalala nga ndi wa myaka musanvu gyokka.
Maama wange teyali musanyufu olw’okuba taata yalina obusungu bungi, era baayombanga nnyo. Bwe nnali wa myaka 11, nnatandika okukozesa ebiragalalagala n’okunywa ennyo omwenge. Nneeyongera okuba omukambwe era nnateranga okulwanagana n’abantu ku nguudo. We nnamalira emisomo gya siniya, nnali nfuuse muntu mukambwe nnyo.
Bwe nnali wa myaka 18, nneewandiisa mu magye g’Amerika. Bwe nnali mu magye nnatendekebwa engeri y’okuttamu abantu. Oluvannyuma lw’emyaka etaano nnava mu magye okusobola okusoma ebikwata ku bwongo, nga nnina ekigendererwa eky’okufuna omulimu mu kitongole ekikola ku by’okunoonyereza. Emisomo gyange egya yunivasite nnagitandikira mu Amerika era bwe nnaddayo mu Canada nneeyongera okusoma.
Bwe nnali ku yunivasite abantu bammalamu nnyo amaanyi. Abantu baali beefaako bokka, buli kimu mu nsi kyali tekireeta ssanyu, era ebizibu by’abantu byalinga ebitasoboka kugonjoolwa. Saalina ssuubi nti abantu basobola okufuula ensi ekifo ekirungi eky’okubeeramu.
Olw’okuba saalina kigendererwa mu bulamu, nnatandika okwekamirira omwenge, okukozesa ebiragalalagala, okuluubirira ssente, n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Nnasinganga kulowooza ku kugendanga ku bubaga n’okwegatta n’abakazi. Okutendekebwa kwe nnafuna mu magye, kwampa obuvumu okulwananga buli kiseera. Nnalowooza nti nze nnina okusalawo ekituufu n’ekikyamu era nnanenyanga buli gwe nnalowoozanga nti ayisizza abalala mu ngeri etali ya bwenkanya. Kyokka ekituufu kiri nti, nnali muddu wa bikolwa eby’obukambwe.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE
Lumu, nze ne mukwano gwange bwe twali tukozesa ebiragalalagala nga tuli mu nnyumba yange, era nga tuteekateeka okukukusa enjaga tusobole okugitunda, mukwano gwange yambuuza oba nga nzikiririza mu Katonda. Nnamuddamu nti, “bwe kiba nti Katonda y’aleeta okubonaabona okuli mu nsi, saagala ku mumanya!” Olunaku olwaddako, bwe nnali ŋŋenze ku mulimu gwe nnali nnaakafuna, mukozi munnange Omujulirwa wa Yakuwa eyasooka okwogera nange yambuuza nti, “Olowooza Katonda y’aleeta okubonaabona okuli mu nsi?” Kyanneewuunyisa okumbuuza ekibuuzo ekyo mu kiseera we nnali njagalira okumanya ku nsonga eyo, era nnayagala okumanya ebisingawo. Emyezi omukaaga egya ddirira, yakubaganya nange ebirowoozo ku Bayibuli, era yandaga okuva mu Bayibuli eby’okuddamu ebikwata ku bibuuzo ebimu bye nnali nneebuuza ku bulamu.
Muganzi wange gwe nnali mbeera naye mu kiseera ekyo, yali tayagala mubuulire ku ebyo bye nnali njiga. Lumu ku Ssande, nnamugamba nti nnali mpise Abajulirwa ba Yakuwa okujja okutuyigiriza Bayibuli. Olunaku olwaddirira, bwe nnakomawo okuva ku mulimu, nnasanga agenze era ng’atutte buli kimu ekyali mu nnyumba. Nnafuluma ebweru ne nkaaba. Ate era nnasaba Katonda ne mwegayirira annyambe. Ogwo gwe gwali omulundi gwange ogusooka okukozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu kusaba.—Zabbuli 83:18.
Oluvannyuma lwe nnaku bbiri, omwami omu ne mukyala we Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okunjigiriza Bayibuli era ogwo gwe gwali omulundi gwange ogusooka. Bwe baamala okugenda nneeyongera okusoma akatabo, Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, era ne nkamalako ekiro ekyo. a Bye nnayiga ku Katonda n’omwana we, Yesu Kristo, byantuuka ku mutima. Nnakiraba nti Yakuwa musaasizi era nti alumwa bwe tubonaabona. (Isaaya 63:9) Okusingira ddala, okwagala kwalina gye ndi kwankwatako nnyo, era n’okuba nti yawaayo omwana we nga ssaddaaka ku lwange. (1 Yokaana 4:10) Nnakiraba nti Yakuwa abadde aŋŋumiikiriza “kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peetero 3:9) Nnawulira nti Yakuwa yali ansika okudda gy’ali.—Yokaana 6:44.
Wiiki eyo yennyini nnatandika okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Nnalina enviiri mpanvu, eby’oku matu era ng’endabika yange etiisa, naye Abajulirwa ba Yakuwa bannyaniriza ng’omu ku b’eŋŋanda zaabwe gwe baali baludde okulaba. Beeyisa ng’Abakristaayo ab’amazima. Nnawulira ng’azzeemu okubeera ne bajjajja bange, naye nga kati embeera nnungi nnyo n’okusingawo.
Mu kiseera kitono, ebintu bye nnali njiga okuva mu Bayibuli byatandika okukyusa obulamu bwange. Nnasalako enviiri zange, nnalekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, era nnalekera awo okukozesa ebiragalalagala n’okunywa ennyo omwenge. (1 Abakkolinso 6:9, 10; 11:14) Nnali njagala kusanyusa Yakuwa. N’olwekyo, bwe nnayiganga nti ekintu ekimu kye nnali nkola yali takyagala, saalonzalonzanga ku kireka. Mu kifo ky’ekyo, nnanakuwalanga mu mutima. Nneegambanga nti, ‘Saagala kuddamu kweyisa bwe nti.’ Era amangu ddala nnafubanga okukyusa endowooza yange ne nneeyisa yange. N’ekyavaamu, nnatandika okufuna emiganyulo egiva mu kukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala. Nga Jjulaayi 29, 1989—nga wayiseewo emyezi mukaaga okuva lwe nnatandika okuyiga Bayibuli—nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU
Bayibuli ennyambye okukyusa engeri zange. Mu biseera eby’emabega omuntu bwe yampisanga obubi, nange nnamukolanga kye kimu. Naye kati nfuba “okuba mu mirembe n’abantu bonna.” (Abaruumi 12:18) Ekyo sikikola mu maanyi gange, naye Yakuwa y’annyamba ng’akozesa amaanyi agali mu Kigambo kye, n’ag’omwoyo omutukuvu, agasobola okukyusa obulamu bw’abantu.—Abaggalatiya 5:22, 23; Abebbulaniya 4:12.
Mu kifo ky’okuba omuddu w’ebiragalalagala, ebikolwa eby’obukambwe, n’ebikolwa eby’obugwenyufu, kati nfuba okusanyusa Yakuwa Katonda n’okumuwa ekisingayo obulungi. Ekyo kizingiramu okuyamba abalala okumumanya. Emyaka mitono oluvannyuma lw’okubatizibwa, nnagenda okubuulira mu kitundu ekirala awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Okumala emyaka, nfunye essanyu eriva mu kuyigiriza abantu Bayibuli n’okulaba engeri gy’etereezaamu obulamu bwabwe. Ate era, ndi musanyufu okuba nti maama wange yafuuka omu mu Bajulirwa ba Yakuwa—ng’ekimu ku ebyo ebyamukwatako y’enkyukakyuka ennungi gye yalaba mu ndowooza yange ne mu nneeyisa yange.
Mu 1999, bwe nnali mu El Salvador, nnagenda mu ssomero kati eriyitibwa Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Essomero eryo lyantendeka okuba omusaale mu mulimu gw’okubuulira era n’okuyigiriza, n’okulabirira ekibiina. Oluvannyuma mu mwaka ogwo, nnawasa mukyala wange omwagalwa, Eugenia. Tuweerereza wamu ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna mu Guatemala.
Kati mu kifo ky’okwetamwa obulamu, ndi musanyufu nnyo. Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kinnyambye okulekayo ebikolwa eby’obugwenyufu n’ebikolwa eby’obukambwe, era kinnyambye okufuna okwagala okwa nnamaddala n’emirembe egya nnamaddala.