BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
“Sikyenyooma”
Yazaalibwa: 1963
Ensi: Mexico
Ebyafaayo: Yasulanga ku nguudo ng’akyali muto; yali yeenyooma
OBULAMU BWANGE BWE BWALI
Nnazaalibwa mu Ciudad Obregón ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Mexico. Twazaalibwa abaana mwenda era nze ow’okutaano. Twali tubeera ku njegoyego ze kibuga taata gye yalina faamu entonotono. Kyali kifo kirungi okubeeramu, era ffenna ng’amaka twali bumu era nga tuli basanyufu. Eky’ennaku, bwe nnali wa myaka etaano, omuyaga gwayonoona faamu yaffe era twalina okusengukira mu kabuga akalala.
Taata yatandika okubeera obulungi mu by’enfuna. Naye mu kiseera ky’ekimu, yatandika okunywa ennyo omwenge. Ekyo kyakosa nnyo obufumbo bwe era naffe abaana. Nze ne bakulu bange babiri twatandika okunywa sigala gwe twabbanga ku taata. Bwe nnali wa myaka mukaaga gyokka, nnanywa omwenge ne ntamiira omulundi ogusookera ddala. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, bazadde bange baayawukana era ne nneeyongera bweyongezi kwenyigira mu mize emibi.
Maama yagenda naffe bwe yagenda okubeera n’omusajja omulala. Omusajja oyo teyawanga maama ssente, era ssente maama ze yakolanga zaabanga tezitumala kweyimirizaawo. N’olwekyo, nze ne baganda bange twakolanga buli mulimu gwe twabanga tusobola, naye ssente ze twakolanga zaabanga tezitumala kukola ku byetaago byaffe. Nnakubanga engatto eddagala era nnatundanga emigaati, empapula z’amawulire, n’ebintu ebirala. Ate era nnatambulatambulanga mu kibuga nga nnoonya emmere okuva mu kasasiro w’abagagga.
Bwe nnali wa myaka kkumi, omusajja yampita okukola naye mu kifo we basuula kasasiro eyaggibwanga mu kibuga. Nnakkiriza okukola naye, ne nva mu ssomero, era ne nva n’awaka. Buli lunaku lwe nnakolanga yansasulanga ssente ezitawera ddoola emu era yampanga emmere eyaggibwanga mu kasasiro. Nnasulanga mu kasiisira ke nnali nzimbye okuva mu bintu bye nnaggya mu kasasiro. Abantu be nnabeerangamu baakozesanga olulimi olubi era nga beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Bangi baali bakozesa ebiragalalagala era nga banywa nnyo omwenge. Kyali kiseera kizibu nnyo, era nnakaabanga buli kiro olw’okutya. Olw’okuba nnali mwavu era nga nnasomako kitono, nneenyoomanga. Nnabeera mu kifo kya kasasiro okumala emyaka esatu, oluvannyuma ne nsengukira mu kibuga ekirala mu Mexico. Bwe nnali eyo, nnakolanga mu masamba ag’enjawulo, nga nnoga ebimuli ne ppamba, nga nkuŋŋaanya ebikajjo, era nga nkungula obummonde.
Oluvannyuma lw’emyaka ena, nnaddayo mu Ciudad Obregón. Omu ku basenga bange eyali omusamize, yampa ekisenge mu nnyumba ye. Nnatandika okuloota ebirooto eby’entiisa era nnennyamira nnyo ne ntuuka n’okulowooza ku ky’okwetta. Lumu ekiro nnasaba Katonda nti: “Mukama, bw’oba nga gy’oli, njagala kukumanya, era nkuweereze emirembe gyonna. Bwe waba nga waliyo eddiini ey’amazima, njagala okugimanya.”
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE
Bulijjo nnayagalanga nnyo okumanya ebikwata ku Katonda. Ne bwe nnali nkyali muto, nnagendanga mu makanisa mangi ag’enzikiriza ez’enjawulo, naye gonna gamalamu bumazi maanyi. Tegaayogeranga bingi bikwata ku Bayibuli era tegannyamba kukola ku bwetaavu bwange obw’eby’omwoyo. Mu makanisa agamu bassanga nnyo essira ku ssente, ate mu malala abakulembeze b’eddiini beenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu.
Bwe nnali wa myaka 19, omu ku bakoddomi bange yaŋŋamba nti Abajulirwa ba Yakuwa baali bamulaze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kukozesa ebifaananyi mu kusinza. Yansomera Okuva 20:4, 5. Awagamba nti tetulina kwekolera bifaananyi byole. Olunyiriri 5 lugamba nti: “Tobivunnamiranga era tosendebwasendebwanga kubiweereza, kubanga nze Yakuwa Katonda wo, ndi Katonda ayagala abantu okunneemalirako.” Oluvannyuma mukoddomi wange yambuuza nti, “Bwe kiba nti Katonda akozesa ebifaananyi okukola ebyamagero oba bwe kiba nti ayagala tubikozese mu kusinza, lwaki abitugaana?” Ekyo kyandeetera okwagala okumanya ebisingawo. Oluvannyuma, twakubaganyanga ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku Bayibuli. Nnanyumirwanga nnyo ebiseera ebyo era obudde bwe twamalanga nnalabanga ng’obutono.
Oluvannyuma, yantwala mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa. Bye nnawulira ne bye nnalaba byankwatako nnyo. N’abaana abato beenyigira mu lukuŋŋaana, era baayogeranga bulungi nga bali ku pulatifoomu! Muli nnagamba nti, ‘Abantu nga bayigirizibwa nnyo wano!’ Wadde nga nnalina enviiri mpanvu era nga ndabika bubi, Abajulirwa ba Yakuwa bannyaniriza bulungi. Era n’ab’omu maka agamu bampita okuliirako awamu n’abo emmere oluvannyuma lw’olukuŋŋaana!
Bwe nnali nsoma Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnayiga nti Yakuwa Katonda ye Kitaffe atwagala ennyo era atufaako ka tube baavu oba bagagga, ba ggwanga ki , oba twasoma oba nedda. Mu butuufu tasosola. (Ebikolwa 10:34, 35) Kyaddaaki, obwetaavu bwange obw’eby’omwoyo bwakolebwako. Nnali sikyawulira ng’atalina ssanyu.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU
Obulamu bwange bwonna bwatandika okulongooka! Nnalekera awo okunywa sigala, okunywa ennyo omwenge, era n’okukozesa olulimu olubi. Obusungu bwe nnalina okuva obuto bwatandika okukendeera, era n’ebirooto ebitiisa byagenda bikendeera. Ate era nnali sikyawulira ng’atalina mugaso, ekyali kivudde ku mbeera enzibu gye nnakuliramu era n’okusoma ekitono.
Nnina omukyala omulungi ayagala Yakuwa era annyamba ennyo. Kati mpeereza ng’omulabirizi atambula ow’Abajulirwa ba Yakuwa, era nkyalira ebibiina okuyigiriza n’okuzzaamu bakkiriza bannange amaanyi, abalinga baganda bange ne bannyinaze. Olw’ebyo bye nnayiga mu Bayibuli n’olw’obuyigirize obusingayo obulungi Katonda bw’atuwa, kati sikyenyooma.