Buuka ogende ku bubaka obulimu

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Guyana

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Guyana

 “Tewali bigambo biyinza kunnyonnyola ssanyu omuntu ly’afuna mu kuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako!” Ebyo bye bigambo ebyayogerwa Joshua abeera mu Amerika, eyaweererezaako mu Guyana okumala ekiseera. Abajulirwa ba Yakuwa bangi abaweererezzaako mu nsi eyo eri mu South America nabo bafunye essanyu lingi. a Biki bye tuyigira ku babuulizi abo abeewaayo okugenda okubuulira mu bitundu awali obwetaavu obusingako? Ebyo bye tubayigirako biyinza bitya okukuyamba okweteekateeka okuweerereza mu nsi endala bwe kiba nga kye kiruubirirwa kyo?

Kiki Ekyabakubiriza?

Linel

 Ow’oluganda ayitibwa Linel bwe yali tannagenda mu Guyana, yabuuliranga mu kitundu ekitatera kubuulirwamu mu Amerika. Agamba nti: “Twali ababuulizi 20 abaasindikibwa okubuulira mu kitundu eky’omu kyalo mu West Virginia. Wiiki ebbiri ze twamala mu kitundu ekyo nga tubuulira era n’emikwano gye nnafuna, byakyusa obulamu bwange! Nnamalirira okukola kyonna ekisoboka nsobole okuweereza Yakuwa mu bujjuvu.”

Erica ne Garth

 Ow’oluganda Garth ne mukyala we Erica baatandika okulowooza ku ky’okuweerereza mu nsi endala, era ne basalawo okugenda e Guyana. Lwaki baasalawo okugenda mu nsi eyo? Erica agamba nti: “Waaliwo abafumbo be twali tumanyi abaali bagenze okuweerereza mu nsi eyo. Essanyu lye baalina n’engeri gye baali baagalamu obuweereza bwabwe, byatusikiriza okugenda mu nsi eyo.” Erica ne Garth baamala emyaka essatu nga baweerereza mu nsi eyo, era baanyumirwa nnyo. Garth agamba nti: “Twalozaako ku ky’okuweerereza mu nsi endala, era ne tulaba nga kirungi.” Ye ne mukyala we, oluvannyumna baagenda mu Ssomero lya Gireyaadi era kati baweerereza mu Bolivia.

Abo abaweerereza mu nsi endala basanga abantu bangi abaagala okumanya ebikwata ku Katonda

Beeteekateeka Batya?

 Bayibuli etukubiriza obutaba na bintu bingi. (Abebbulaniya 13:5) Ate era etukubiriza okubalirira ebizingirwamu nga tetunnakola kusalawo kwa maanyi. (Lukka 14:26-33) Ekyo kikwata ne ku kusalawo okugenda okuweerereza mu nsi endala. Garth agamba nti: “Nga tetunnagenda Guyana, nze ne Erica twalina okweggyako ebintu ebimu. Ekyo kyali kizingiramu okutunda bizineesi yaffe, ennyumba yaffe, n’ebintu byonna bye twali tuteetaaga. Ekyo kyatwala emyaka egiwerako. Mu kiseera ekyo, twasigala tulowooza ku kiruubirirwa kyaffe eky’okugenda mu Guyana era twakyalangayoko buli mwaka.”

Sinead ne Paul

 Ekintu ekirala eky’okulowoozaako bye byenfuna. Ab’oluganda abamu abagenda okuweerereza mu nsi endala basobola okukola emirimu mu nsi eyo, amateeka bwe gaba nga gabakkiriza. Abalala basigala bakola emirimu gye baakolanga nga bakyali mu nsi yaabwe, nga bakozesa kompyuta. Ate abalala basalawo okuddangayo mu nsi yaabwe okukola okumala ekiseera. Ow’oluganda Paul ne mukyala we Sinead baddangayo mu Ireland okukola omulundi gumu mu mwaka. Ekyo kyabasobozesa okuweerereza mu Guyana okumala emyaka 18, nga kw’otadde emyaka omusanvu gye baamala nga baweerereza mu nsi eyo oluvannyuma lw’okufuna omwana.

Christopher ne Lorissa

 Zabbuli 37:5 wagamba nti: “Amakubo go gakwasenga Yakuwa; mwesigenga, era naye ajja kukuyamba.” Christopher ne Lorissa ababeera mu Amerika, baalina ekiruubirirwa eky’okuweererezaako mu nsi endala era baasabanga nnyo Katonda abayambe okukituukako. Ate era bwe baabanga mu kusinza kw’amaka, baateranga okwogera ku bye balina okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, nga mw’otwalidde n’ebirungi ebirimu awamu n’okusoomoozebwa okulimu. Olw’okuba tekyali kyangu gye bali okuyiga olulimi olulala, baasalawo okugenda e Guyana gye bakozesa Olungereza ng’olulimi olukulu.

 Oluvannyuma, baakolera ku magezi agali mu Engero 15:22, awagamba nti: “Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka, naye bwe wabaawo abawi b’amagezi abangi wabaawo ekituukibwako.” Baawandiikira ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Guyana, b ne babategeeza nti baagala okugenda okuweerereza mu nsi eyo, era n’ebibakwatako. Ate era, baabuuza ne ku by’obujjanjabi mu nsi eyo, embeera y’obudde, n’obuwangwa. Ofiisi y’ettabi yabaddamu, era n’ebakwataganya n’abakadde b’omu kitundu gye baali bagenda okuweerereza.

 Linel, eyayogeddwako, kati aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu Guyana. Bwe yali tannagenda mu nsi eyo, naye yakolera ku magezi agali mu Engero 15:22. Agamba nti: “Ng’oggyeeko okusonda ssente z’entambula, nnayogerako n’abalala abaaweererezaako mu nsi endala. Ensonga eyo nnagyogerako n’ab’omu maka gange, abakadde mu kibiina, n’omulabirizi akyalira ebibiina. Ate era nnasoma ebitundu ebifulumira mu bitabo byaffe ebyogera ku kuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako.”

Joseph ne Christina

 Bangi abaagala okugenda okuweerereza mu nsi endala, basooka ne bakyalako mu nsi eyo. Joseph ne mukyala we Christina bagamba nti: “Omulundi gwe twasooka okugenda mu Guyana twamalayo emyezi esatu. Ebbanga eryo lyatumala okutegeera embeera nga bwe yali. Oluvannyuma twaddayo eka ne tweteekateeka, era ne tugenda okuweerereza mu nsi eyo.”

Nkyukakyuka Ki Ze Baakola?

Joshua

 Abo ababa bagenze okuweerereza mu nsi endala okusobola okunyumirwa obuweereza bwabwe, balina okuba n’omwoyo gw’okwefiiriza era n’okuba abeetegefu okutuukana n’embeera awamu n’obuwangwa bw’ekitundu. Ng’ekyokulabirako, abo ababa bavudde mu bitundu ebirimu obunnyogovu ne bagenda mu bitundu eby’omusana basobola okusangayo ebiwuka ebya buli kika. Joshua, eyayogeddwako agamba nti: “Nnali saamanyiira kulaba biwuka, gamba ng’ebiku n’ebiyenje nga bingi. Ate eby’omu Guyana byali binene nnyo! Naye oluvannyuma lw’ekiseera, nnagenda mbimanyiira. Ate era nnakizuula nti bw’okuuma awaka nga wayonjo, osobola okubikendeezaako. Ekyo kizingiramu okwaza ebintu, okusuulayo kasasiro, n’okusiimuula ennyumba buli lunaku.”

 Okumanyiira obulamu mu nsi endala kiyinza okuzingiramu okumanyiira emmere gy’obadde tomanyi n’okuyiga engeri y’okugifumbamu. Joshua agamba nti: “Nze n’ow’oluganda gwe nnali mpeereza naye twasaba ab’oluganda okutuyigiriza engeri y’okufumbamu ebika by’emmere eby’enjawulo eyali eriibwa mu kitundu ekyo. Oluvannyuma lw’okuyiga engeri y’okufumbamu ekika ky’emmere ekimu, twayitanga ab’oluganda ab’omu kibiina kyaffe okujja okuliirako awamu naffe. Ekyo kyatusobozesanga okwongera okumanya ab’oluganda abo n’okufuna emikwano.”

Paul ne Kathleen

 Bwe kituuka ku mpisa n’ennyambala y’omu kitundu, Paul ne Kathleen bagamba nti: “Twalina okuyiga empisa n’ennyambala ey’omu kitundu ebyali ebipya ennyo gye tuli. Twalina okuba abeetoowaze n’okukola enkyukakyuka, ate nga tetusudde muguluka misingi gya Bayibuli. Okutuukana n’empisa z’omu kitundu kyatusobozesa okuba n’enkolagana ennungi n’ab’oluganda mu kibiina, era kyatuyamba nnyo mu buweereza bwaffe.”

Baaganyulwa Batya?

 Joseph ne Christina bagamba nti: “Emikisa gy’ofuna gisingira wala okusoomoozebwa kw’oyitamu. Okukolayo ekintu ekipya era ekitaali kyangu gye tuli mu kusooka, kyatuyamba okukola enkyukakyuka mu ebyo bye twali tutwala ng’ebisinga obukulu mu bulamu. Okuba n’ebintu twalekera awo okukitwala ng’ekisinga obukulu. Buli kirungi kye twatuukangako mu buweereza bwaffe, kyatuleeteranga okweyongera okuba abamalirivu okuweereza Yakuwa. Tuli basanyufu nnyo era tuli bamativu.”

 Erica, eyayogeddwako agamba nti: “Okuweereza awali obwetaavu obusingako kinnyambye nze n’omwami wange okumanya kye kitegeeza okwesiga Yakuwa. Atuyambye okuyita mu mbeera ze twali tutayitangamuko. Ate era, embeera ze tuyiseemu ffembi zituyambye okweyongera okunyweza obufumbo bwaffe.”

a Ofiisi y’ettabi eya Trinidad and Tobago yeerabirira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Guyana.

b Ebyafaayo by’omulimu gw’okubuulira mu Guyana bisangibwa mu katabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses aka 2005.