Baayambalanga Yunifoomu Ezaabangako Akabonero ka Kakobe ak’Ensonda Essatu
Maud abeera mu Bufalansa akola ku ssomero, era ayamba abaana abaliko obulemu mu kiseera eky’okusoma. Gye buvuddeko awo, abaana baali bayiga ku kitta bantu ne ku nkambi z’Abanazi. Abasibe baayambalanga yunifoomu ezaabanga zitungiddwako akabonero. Langi y’akabonero n’engeri gye kaakomolebwamu byalaganga ensonga eyabanga esibisizza omuntu oyo.
Omusomesa bwe yali annyonnyola abayizi akabonero aka kakobe ak’ensonda essatu akaabanga ku yunifoomu z’abasibe abamu, yagamba nti: “Ndowooza olw’okuba baali balyi ba bisiyaga.” Oluvannyuma lw’okusoma, Maud yayogera n’omusomesa n’amunnyonnyola nti akabonero ka kakobe ak’ensonda essatu Abanazi baakakozesanga okwawulawo abasibe Abajulirwa ba Yakuwa. a Maud yasuubiza okuleetera omusomesa ebintu ebyogera ku nsonga eyo. Omusomesa yakkiriza era n’asaba Maud abibuulireko n’abayizi.
Ku lunaku olulala, omusomesa omulala yakozesa ekipande ekyaliko obubonero obw’enjawulo obwabanga ku yunifoomu z’abasibe. Ekipande ekyo kyalaga bulungi nti akabonero aka kakobe ak’ensonda essatu kaakozesebwanga okwawulawo abasibe Abajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’okusoma, Maud yasuubiza okuwa omusomesa oyo ebintu ebirala ebyogera ku nsonga eyo. Omusomesa yakkiriza era yakola enteekateeka Maud ayogere n’abayizi ku nsonga eyo.
Maud yategeka okwogera kwa ddakiika 15, naye ekiseera bwe kyatuuka eky’okwogera eri abayizi, omusomesa yamugamba nti: “Osobola okukozesa essaawa nnamba.” Maud yasooka kubalaga vidiyo eraga engeri Abanazi gye baayigganyaamu Abajulirwa ba Yakuwa. Vidiyo bwe yayogera ku baana 800 Abajulirwa, Abanazi be baggya ku bazadde baabwe, Maud yayimiriza vidiyo n’asoma ebyokulabirako bya basatu ku baana abo. Oluvannyuma lw’okulaga vidiyo, Maud yafundikira ng’asoma ebbaluwa eyawandiikibwa omuvubuka Omujulirwa wa Yakuwa ow’emyaka 19 ow’omu Austria, gye yawandiika mu 1940 ng’asiibula bazadde be ng’ebulayo essaawa ntono Abanazi bamutte. b
Ne mu kibiina ekyaddako, Maud yakola kye kimu. Olw’obuvumu Maud bwe yayoleka, kati abasomesa bombi bakakasa nti boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa bwe baba bayigiriza abaana ebikwata ku bantu abaabonyaabonyezebwa mu nkambi z’Abanazi.
a Mu kiseera kya Ssematalo ow’Okubiri, Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani, era abaali bamanyiddwa nga Bibelforscher (Abayizi ba Bayibuli), baasibibwa mu kkomera olw’okugaana okuwagira Abanazi.
b Gerhard Steinacher yattibwa olw’okugaana okuyingira amagye ga Bugirimaani. Mu bbaluwa gye yawandiika ng’asiibula bazadde be yagamba nti: “Nkyali mwana muto. Sisobola kusigala nga ndi munywevu, okuggyako nga Mukama ampadde amaanyi, era ekyo kye mmusaba.” Enkeera ku makya, Gerhard yattibwa. Ku ntaana ye baawandiikako ebigambo ebisoma nti: “Yafa olw’okutya Katonda.”