ABAVUBUKA BABUUZA
Lwaki Nsaanidde Okugenda mu Nkuŋŋaana ku Kingdom Hall?
Emirundi ebiri buli wiiki, Abajulirwa ba Yakuwa baba n’enkuŋŋaana mu bifo gye basinziza ebiyitibwa Kingdom Hall. Biki ebikolebwayo, era oyinza otya okuganyulwa ng’ogenzeeyo?
Biki ebikolebwa ku Kingdom Hall?
Mu Kingdom Hall tuyiga engeri gye tusobola okukolera ku magezi agali mu Bayibuli. Bw’ogenda mu nkuŋŋaana ezibaayo osobola:
okuyiga amazima agakwata ku Katonda.
okutegeera ensonga lwaki ebintu ebimu bibaawo mu nsi.
okweyongera okuba omuntu omulungi.
okufuna emikwano emirungi.
Obadde okimanyi? Ekifo Abajulirwa ba Yakuwa we bakuŋŋaanira kiyitibwa Kingdom Hall oba Ekizimbe ky’Obwakabaka, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bwogerwako nnyo mu kifo ekyo.—Matayo 6:9, 10; 24:14; Lukka 4:43.
Lwaki osaanidde okugenda ku Kingdom Hall?
Ebiyigirizibwayo bijja kukuganyula. Ebyawandiikibwa ebikubaganyizibwako ebirowoozo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa bijja kukuyamba ‘okufuna amagezi.’ (Engero 4:5) Ekyo kitegeeza nti Bayibuli esobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ate era esobola okukuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu, gamba nga bino:
Bino bye bimu ku ebyo ebyogerwako mu nkuŋŋaana zaffe ezibeerawo ku wiikendi:
Lwaki Osaanidde Okukolera ku Bulagirizi Obuli mu Bayibuli?
Wa gy’Oyinza Okuggya Obuyambi mu Biseera Ebizibu?
Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Butukolera Kati.
“Omwana gwe nsoma naye yajja mu lumu ku nkuŋŋaana zaffe. Nze n’ab’eka twatuula naye, era ne tukozeseza wamu ebitabo byaffe. Oluvannyuma yaŋŋamba nti yakwatibwako nnyo olw’ebyo abalala bye baddamu mu kitundu eky’okukubaganya ebirowoozo. Era yaŋŋamba nti mu kkanisa ye tebalina bya kukozesa kuyiga Bayibuli nga ffe bye tulina.”—Brenda.
Obadde okimanyi? Okuyingira mu Kingdom Hall kwa bwereere, era tewabaayo kusolooza ssente.
Ojja kuzzibwamu amaanyi. Bayibuli egamba nti emu ku nsonga lwaki Abakristaayo bakuŋŋaana wamu, kwe ‘kuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Abebbulaniya 10:24, 25) Okubeera awamu n’abantu abafuba okukola Katonda by’ayagala era abafaayo ku balala kizzaamu nnyo amaanyi, naddala mu nsi eno ejjudde abantu abeefaako bokka.
“Waliwo lwe mpulira nga mpeddemu amaanyi, naye bwe ŋŋenda ku ‘Kingdom Hall,’ mpulira nga nziziddwamu amaanyi. Bwe mba nzirayo okuva mu nkuŋŋaana mba musanyufu, era nga ndi mwetegefu okutandika olunaku olulala.”—Elisa.
Obadde okimanyi? Waliwo ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 120,000 okwetooloola ensi yonna, era nga bikuŋŋaanira mu bifo ebisukka mu 60,000. Buli mwaka, Kingdom Hall ezisukka mu 1,500 zizimbibwa, abantu abeeyongera obungi abazijjamu basobole okufuna aw’okukuŋŋaanira. a
a Okusobola okumanya ekifo ekikuli okumpi, genda ku “Enkuŋŋaana z’Ekibiina ez’Abajulirwa ba Yakuwa” ku jw.org/lg, onyige ku bigambo “Noonya Ekifo Ekikuli Okumpi.”