Buuka ogende ku bubaka obulimu

ABAVUBUKA BABUUZA

Nnyinza Ntya Okwewala Okukola Ekibi nga Nkemeddwa?

Nnyinza Ntya Okwewala Okukola Ekibi nga Nkemeddwa?

 Omutume Pawulo yagamba nti: “Bwe njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange.” (Abaruumi 7:21) Wali owuliddeko bw’otyo? Bwe kiba kityo, ekitundu kino kisobola okukuyamba okulaba engeri gy’oyinza okwewala okukolera ku kwegomba okubi.

 Ky’osaanidde okumanya

 Okukemebwa n’okupikirizibwa bitera okubeerawo mu kiseera kye kimu. Bayibuli egamba nti: “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33) Okupikirizibwa abalala oba emikutu emigattabantu biyinza okukuleetera okufuna okwegomba okuyinza okukuviirako okukemebwa era kusobola okukuviirako okwagala ‘okugoberera abangi abakola ebintu ebibi.’—Okuva 23:2.

 “Okwagala okusanyusa abalala kiyinza okukuleetera okukola ekintu kyonna kye bakola.”—Jeremy.

 Eky’okulowoozaako: Lwaki okufaayo ennyo ku ekyo abalala kye bakulowooleza kiyinza okukifuula ekizibu gy’oli okwewala okukola ekibi ng’okemeddwa?—Engero 29:25.

 Ky’olina okumanya: Tokkiriza kupikirizibwa okuva eri bano kukuleetera butakolera ku mitindo gy’otambulirako.

 Ky’oyinza okukola

 Manya by’okkiririzaamu. Bw’oba tomanyi ebyo by’okkiririzaamu, oba olinga kiddole abalala kye bazannyisa. Kikulu nnyo okukolera ku magezi gano agali mu Bayibuli agagamba nti: “Mwekenneenyenga ebintu byonna okukakasa nti bituufu.” (1 Abassessalonika 5:21) Gy’onookoma okutegeera ebyo by’okkiririzaamu, gye kijja okukoma okukubeerera ekyangu okubinywererako ng’okemeddwa.

 Eky’okulowoozaako: Lwaki okkiriza nti emitindo gya Yakuwa egy’empisa giriwo ku lwa bulungi bwo?

 “Nkirabye nti buli bwe nnywerera ku ekyo kye nzikiririzaamu, ne sekkiriranya nga nkemeddwa, abalala bongera okunzisaamu ekitiibwa.”—Kimberly.

Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli: Danyeri. Kirabika Danyeri “yamalirira mu mutima gwe” okugondera amateeka ga Katonda ng’akyali mutiini.—Danyeri 1:8.

Bw’oba tomanyi by’okkirizaamu, oyinza okufaananako ddole gye bazannyisa

 Manya obunafu bwo. Bayibuli eyogera ku ‘kwegomba okw’omu buvubuka’ okubeerawo nnaddala mu myaka egy’obuvubuka. (2 Timoseewo 2:22) Si kwegomba kwenyigira mu bikolwa eby’okwegatta kyokka, wabula n’okwagala okukola ebintu ng’abalala era n’okwagala okwetongola ng’ekiseera tekinnatuuka.

 Eky’okulowoozaako: Bayibuli egamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe.” (Yakobo 1:14) Kwegomba ki okubi okusinga okukutwaliriza?

 “Manya ebikemo ebisobola okukutwaliriza. Noonyereza ku ebyo ebisobola okukuyamba obutagwa mu bikemo ebyo era owandiike amagezi agasobola okukuyamba ng’oyolekaganye n’ebikemo ebyo. Ekyo kijja kukuyamba okwewala okukola ekibi ng’ozzeemu okwolekagana n’ebikemo ebyo.”—Sylvia.

 Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli: Dawudi. Dawudi ebiseera ebimu yatwalirizibwanga okwegomba kwe, oba ng’apikiriziddwa. Naye Dawudi yayigira ku nsobi ze era n’afuba okukola ebintu mu ngeri ennungi. Yasaba Yakuwa nti: “Ntondaamu omutima omulongoofu, era nteekaamu omwoyo omuggya, omunywevu.”—Zabbuli 51:10.

 Weefuge Bayibuli egamba nti: “Tokkirizanga kuwangulwa bintu bibi.” (Abaruumi 12:21) Ekyo kitegeeza nti osobola okwewala okukola ekibi ng’okemeddwa era n’osalawo okukola ekituufu.

 Eky’okulowoozaako: Biki ebisobola okukuyamba okwefuga, n’otakola kibi ng’okemeddwa?

 “Ndowooza ku ngeri gye nnaawuliramu singa nnekkiriranya ne nkola ekibi. Kinaandetera essanyu? Oboolyawo okumala akaseera katono. Kinandeetera okuwulira obulungi n’oluvannyuma lw’ekiseera okuyitawo? Nedda, kijja kundeetera kuwulira bubi. Ddala essanyu lye nnaafuna nga nkoze ekibi lisinga obulumi obunavaamu? Nedda!”—Sophia.

 Ekyokulabirako okuva mu Bayibuli: Pawulo. Wadde nga Pawulo yagamba nti yalina okwegomba okubi, yeefuga. Yagamba nti: “Nkuba omubiri gwange era ngufuga ng’omuddu.”—1 Abakkolinso 9:27.

 Ky’osaanidde okumanya: Bw’okemebwa okukola ekibi, ggwe osalawo obanga onaakikola oba nedda.

 Kijjukire nti ebikemo bya kaseera buseera. Melissa ow’emyaka 20 agamba nti: “Bwe nnali mu siniya, bingi ku bikemo ebyali bintwaliriza kati tebikyantwaliriza. Ekyo kindeetera okuba omukakafu nti n’ebikemo ebintwaliriza leero bijja kuggwaawo, era oluvannyuma lw’ekiseera bwe ndibifumiitirizaako nja kuba musanyufu olw’okuba sekkiriranya.”