Buuka ogende ku bubaka obulimu

ABAVUBUKA BABUUZA

Nnyinza Ntya Okulekera Awo Okuba ow’Ensonyi?

Nnyinza Ntya Okulekera Awo Okuba ow’Ensonyi?

 Eky’ennaku: Ensonyi ziyinza okukulemesa okukola emikwano egya nnamaddala n’okukufiiriza ebintu ebiyinza okukuganyula.

 Eky’Essanyu: Oluusi tekiba kibi okuba n’ensonyi. Kisobola okukuyamba okulowooza nga tonnayogera era kisobola okukuyamba okuba omuntu eyeetegereza era awuliriza obulungi.

 Ekizzaamu amaanyi: Okuba nti oli muntu wa nsonyi, tekitegeeza nti tosobola kulekera awo kuba wa nsonyi. Osobola okukendeeza ku ebyo ebiva mu kuba ow’ensonyi. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri ekyo gy’oyinza okukikolamu.

 Manya ebikutiisa

 Ensonyi ziyinza okukuleetera okutya okwogera n’abantu maaso ku maaso. Ekyo kiyinza okukuleetera okweyawula ku balala, kwe kugamba, n’oba ng’ali mu kisenge ekikutte enzikiza. Ekyo nga kiba kibi nnyo! Naye bw’omanya ebikutiisa, oyinza okukiraba nti tewali nsonga ekuleetera kutya. Lowooza ku byokulabirako bino bisatu.

  •   Ekiyinza okukutiisa #1: “Simanyi kya kwogera.”

     Ensonga lwaki tosaanidde kutya: Abantu batera kujjukira engeri gy’obaleetera okuwuliramu okusinga ebyo by’oba oyogedde. Oyinza okukendeeza ku kutya kw’oba nakwo ng’ofuba okuba omuwuliriza omulungi era ng’okiraga nti ofaayo ku ebyo abalala bye boogera.

     Eky’okulowoozaako: Wandyagadde kuba na mukwano gwa ngeri ki? Oyo ayogera nga takuganya kwogera, oba oyo awuliriza obulungi?

  •   Ekiyinza okukutiisa #2: “Abantu bajja kulowooza nti bye njogera tebinyuma.”

     Ensonga lwaki tosaanidde kutya: Ka kibe nti olina ensonyi oba nedda, abantu bajja kubaako kye bakulowooleza. Singa okendeeza ku kutya kw’olina, n’oleka abantu okumanya ekyo kyennyini ky’oli, kisobola okubayamba okukyusa mu ekyo kye bakulowooleza.

     Eky’okulowoozaako: Bw’oba olowooza nti buli omu akulinako endowooza embi, kyandiba nti obafuna bubi, ng’ekyo okirowooza bulowooza?

  •   Ekiyinza okukutiisa #3: “Nja kuswala nga njogedde ekintu ekikyamu.”

     Ensonga lwaki tosaanidde kutya: Oluusi ekyo kituuka ku buli muntu. Oyinza okukendeeza ku kutya kw’oba nakwo, singa bw’okola ensobi okatwala ng’akakisa okukiraga nti tewessaako nnyo birowoozo.

     Eky’okulowoozaako: Onyumirwa okubeera n’abantu abakikkiriza nti basobola okukola ensobi?

 Obadde okimanyi? Abantu abamu balowooza nti tebalina nsonyi olw’okuba basindikira nnyo abalala obubaka ku ssimu. Naye kyangu okukola emikwano egya nnamaddala ng’onyumya n’abantu maaso ku maaso. Kakensa omu mu mbeera z’abantu ne tekinologiya, Sherry Turkle, yagamba nti: “Okunyumya n’omuntu maaso ku maaso, kiyamba buli omu okutegeera munne obulungi.” a

Bw’omanya engeri gy’osobola okwaŋŋangamu ebikutiisa ojja kukiraba nti okwogera n’abantu maaso ku maaso tekitiisa nnyo nga bwe wali olowooza

 By’oyinza okukola

  •   Weewale okwegeraageranya. Tekikwetaagisa kuba ng’oyanguyirwa okunyumya na buli muntu. Ekigendererwa kyo kya kukendeeza ku kutya kw’oba nakwo, osobole okukola emikwano emirungi era oganyulwe mu bintu ebisobola okukuzimba.

     “Tekikwetaagisa kwogera bingi na kuba muntu acamula abalala. Weeyanjulire omuntu gwe waakasooka okulaba oba mubuuze ebibuuzo ebitonotono era ebyangu.”—Alicia.

     Omusingi okuva mu Bayibuli: “Buli omu akebere ebyo by’akola, awo ajja kuba ne ky’asinziirako okwenyumiriza ku lulwe, nga teyeegeraageranyizza na muntu mulala.”—Abaggalatiya 6:4.

  •   Beera omuntu eyeetegereza. Weetegereze abantu abatera okunyumirwa okuba n’abalala era olabe engeri gye banyumyamu nabo. Biki bye bakola? Biki bye batakola? Biki by’osobola okubakoppako?

     “Weetegereze abantu abanguyirwa okukola emikwano. Weetegereze ebyo bye bakola ne bye boogera nga basisinkanye omuntu omulundi ogusooka.”—Aaron.

     Omusingi okuva mu Bayibuli: “Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, n’omuntu bw’atyo bw’awagala mukwano gwe.”—Engero 27:17.

  •   Buuza ebibuuzo. Abantu batera okwagala okuwa endowooza yaabwe ku bintu ebitali bimu, n’olwekyo okubaako by’obabuuza y’emu ku ngeri gy’osobola okutandika okunyumya n’abantu. Ate era kireetera abalala obutakussaako nnyo birowoozo.

     “Okweteekateeka nga bukyali kiyinza okukuyamba okukendeeza ku kutya kw’oba nakwo. Oyinza okulowooza ku bintu bye muyinza okunyumyako oba ebibuuzo by’oyinza okubuuza abantu nga tonnabasisinkana. Ekyo kiyinza okukendeeza ku kutya kw’oyinza okuba nakwo ng’obasisinkanye.”—Alana.

     Omusingi okuva mu Bayibuli: ‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufaaye ne ku by’abalala.’—Abafiripi 2:4.

a Okuva mu kitabo ekiyitibwa Reclaiming Conversation.