Buuka ogende ku bubaka obulimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OKUKUZA ABAANA

Abaana n’Emikutu Emigattabantu—Ekitundu 1: Omwana Wange Asaanidde Okukozesa Emikutu Emigattabantu?

Abaana n’Emikutu Emigattabantu—Ekitundu 1: Omwana Wange Asaanidde Okukozesa Emikutu Emigattabantu?

 Okunoonyereza okumu okwakolebwa kwalaga nti abavubuka 97 ku buli kikumi bakozesa emikutu emigattabantu. N’omwana wo ayagala nnyo okukozesa emikutu egyo? Bwe kiba bwe kityo, waliwo ebintu ebitonotono by’olina okulowoozaako.

Mu kitundu kino

 Engeri omwana wo gy’anaakozesaamu ebiseera bye

 Omukutu oguyitibwa HelpGuide, gugamba nti, “Emikutu emigattabantu gyakolebwa okutwaliriza ebirowoozo byo, okukukuumira ku Intaneeti, era n’okuba nga buli kiseera okebera ku ssimu yo okulaba ebipya.”

 “Emikutu emigattabantu mba njagala kugimalako eddakiika ntono, naye nneesanga mmaze essaawa eziwerako nga nkebera ebipya ebigibaako. Kimbeerera kizibu okuva ku ssimu nkole ekintu eky’omugaso.”—Lynne, wa myaka 20.

 Weebuuze: Omwana wange anaasobola okugoberera amateeka ge nnassaawo agakwata ku biseera by’alina okumala ku mikutu emigattabantu? Omwana wange mukulu ekimala okweteerawo ekkomo ku biseera by’alina okumala ku Intaneeti?

 Omusingi gwa Bayibuli: “Mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu . . . [mutambule] ng’abalina amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe.”—Abeefeso 5:15, 16.

Okukkiriza omwana wo okukozesa emikutu emigattabantu nga talina bulagirizi, kiba ng’okumuleka okuvuga embalaasi nga tatendekeddwa bulungi

 Endowooza omwana wo gy’alina ku mikwano

 Emikutu emigattabantu gyakolebwa okuleetera abantu okuwuliziganya n’abantu bangi. Kyokka ebiseera ebisinga, abantu abo tebaba mikwano gya nnamaddala.

 “Nkyetegerezza nti abavubuka bangi balowooza nti bwe bafuna abantu abawerako ku Intaneeti abagoberera bye bakola, ekyo kiraga nti abantu bangi babafaako, ne bwe kiba nti abantu abo tebabamanyi bulungi. Naye ekyo kikyamu”—Patricia, wa myaka 17.

 Weebuuze: Omwana wange mukulu ekimala okukimanya nti okuba omututumufu n’okuba n’abantu abangi abakugoberera oba abakwagala ku Intaneeti si kikulu? Asobola okukola emikwano mu buntu?

 Omusingi gwa Bayibuli: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”—Engero 17:17.

 Engeri enneewulira y’omwana wo gy’eneekwatibwako

 Abanoonyereza bakizudde nti abantu abakozesa ennyo emikutu emigattabantu batera okuwulira ekiwuubaalo, okweraliikirira, era n’okwennyamira.

 “Okulaba ebifaananyi ebiraga mikwano gyo bye bakola nga ggwe toli nabo, kikuleetera okuwulira obubi.”—Serena, wa myaka 19.

 Weebuuze: Omwana wange mukulu ekimala okusobola okwewala obuterowoozaako nnyo, okuvuganya, oba okukosebwa ebyo by’alaba abalala nga bakola ku mikutu emigattabantu?

 Omusingi gwa Bayibuli: “Ka tulemenga okwetwala nti tuli ba kitalo, nga tuleetawo okuvuganya wakati mu ffe, era nga tukwatirwagana obuggya.”—Abaggalatiya 5:26.

 Engeri omwana wo gy’anaakozesaamu Intaneeti

 Emikutu emigattabantu gisobola okuleetera abantu okukola ebintu, gamba ng’okuyiikiriza abalala, okuweerezagana eby’obugwenyufu ku ssimu, era n’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ne bwe kiba nti omwana wo takola bintu ebyo, asobola okutwalirizibwa.

 “Nkiraba nti wadde ng’ebiri ku mikutu emigattabantu biyinza okulabika ng’ebirungi, bisobola okukyuka amangu ne bifuuka ebibi. Abantu bakozesa nnyo ebigambo eby’obuwemu era n’ennyimba ezitasaana.”—Linda, wa myaka 23.

 Weebuuze: Omwana wange mukulu ekimala okusobola okukozesa obulungi Intaneeti? Omwana wange anaasobola okwefuga ne yeewala ebintu eby’obuseegu?

 Omusingi gwa Bayibuli: “Ebikolwa eby’obugwenyufu n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu tebirina na kwogerwako mu mmwe, . . . newakubadde ebikolwa ebikwasa ensonyi, oba okwogera eby’ekisirusiru, oba okusaaga okw’obuwemu.”—Abeefeso 5:3, 4.

 Kyetaagisa okukozesa emikutu emigattabantu?

 Omuntu teyeetaaga mikutu emigattabantu okusobola okuba omulamu, oba n’okuba omusanyufu mu bulamu. Abavubuka bangi nga mwe muli n’abo abaali bakozesezaako ku mikutu emigattabantu naye ne basalawo okugireka, babeerawo nga tebagikozesa era bamativu.

 “Oluvannyuma lw’okulaba engeri mwannyinaze gye yakosebwamu olw’engeri gye yakozesaamu emikutu emigattabantu, nnasalawo okulekera awo okugikozesa. Okuva ku olwo, nneeyongedde okuba omusanyufu era mpulira nti nfunye ebintu ebinyuma bingi mu bulamu.”—Nathan, wa myaka 17.

 Ky’olina okukola: Nga tonnakkiriza mwana wo kukozesa mikutu emigattabantu, kakasa nti akuze mu birowoozo era asobola okweteerawo ekkomo ku biseera by’amala ku mikutu egyo, asobola okukola emikwano emirungi, era n’okwewala ebintu eby’obuseegu.

 Omusingi gwa Bayibuli: “Omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.”—Engero 14:15.