Bw’Oba Olina Obulwadde Obutawona, Bayibuli Esobola Okukuyamba?
Bayibuli ky’egamba
Yee. Katonda afaayo ku baweereza be abalwadde. Ng’eyogera ku muweereza wa Katonda omwesigwa, Bayibuli egamba nti: “Yakuwa anaamulabiriranga ng’ali ku ndiri.” (Zabbuli 41:3) Bw’oba olina obulwadde obutawona, amagezi gano gasobola okukuyamba:
Saba Katonda akuwe amaanyi okuguma. Osobola okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.” Ekyo kisobola okukuyamba obuteeraliikirira kisukkiridde era kisobola okukuyamba okuguma.—Abafiripi 4:6, 7.
Ba n’endowooza ennuŋŋamu. Bayibuli egamba nti: “Omutima omusanyufu ddagala ddungi, naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.” (Engero 17:22) Yiga okusaagasaagako, kubanga ekyo kiyinza okuwewula ku kizibu ky’olina era kisobola okukuyamba okuba n’obulamu obulungiko.
Weesige ebisuubizo bya Katonda. Okuba n’essuubi erinywevu kisobola okukuyamba okuba omusanyufu wadde ng’olina obulwadde obutawona. (Abaruumi 12:12) Bayibuli esuubiza nti ekiseera kijja kutuuka nga mu nsi temukyali muntu agamba nti: “Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) Mu kiseera ekyo Katonda ajja kumalawo endwadde zonna ezitawona eziremye bannassaayansi okumalawo. Ng’ekyokulabirako, Katonda ajja kuggyawo okukaddiwa. Bayibuli egamba nti: “Omubiri ggwe ka gudde buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka; era k’abe n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.”—Yobu 33:25.
Weetegereze: Wadde nga bakimanyi nti Katonda ayamba abo abalina obulwadde obutawona, Abajulirwa ba Yakuwa bwe balwala, bagenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi. (Makko 2:17) Kyokka Abajulirwa ba Yakuwa tebalina bujjanjabi bwe bakubiriza bantu kufuna; bakimanyi nti buli muntu asaanidde okwesalirawo ku lulwe obujjanjabi bw’ayagala.