Ddala Abantu Abayivu Bakkiriza nti Yesu Yaliyo?
Waliwo obukakafu bungi abantu abayivu kwe basobola okusinziira okukkiriza nti ddala Yesu yaliyo. Nga kyogera ku ebyo bannabyafaayo ab’omu kyasa ekyasooka n’eky’okubiri bye baawandiika ku Yesu ne ku Bakristaayo abaasooka, ekitabo Encyclopædia Britannica ekya 2002 kigamba nti: “Ebyo bannabyafaayo ab’enjawulo bye baawandiika biraga nti mu kiseera ekyo n’abantu abaali bataagala Bakristaayo baali tebabuusabuusa nti Yesu yaliwo. Abantu abamu okutandika okubuusabuusa nti Yesu yaliwo kyaliwo ku nkomerero y’ekyasa ekya 18, mu kyasa 19, ne ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20.”
Mu 2006, ekitabo Jesus and Archaeology kyagamba nti: “ewali n’omu ku bantu abayivu abamanyiddwa ennyo leero abuusabuusa nti Omuyudaaya ayitibwa Yesu mutabani wa Yusufu yaliwo. Bangi ku bo bakikkiriza nti leero tumanyi bingi nnyo ebikwata ku ebyo Yesu bye yakola n’ebyo bye yayigiriza.”
Bayibuli eraga nti Yesu ddala yaliwo. Etubuulira amannya ga bajjajjaabe n’ab’eŋŋanda ze. (Matayo 1:1; 13:55) Era etubuulira amannya g’abafuzi abatutumufu abaaliwo mu kiseera kya Yesu. (Lukka 3:1, 2) Ebintu ebyo biyamba abanoonyereza okukakasa nti Bayibuli by’eyogera bituufu.