Ekibi Kye Ki?
Bayibuli ky’egamba
Ekibi kye kikolwa kyonna oba endowooza ekontana n’emitindo gya Katonda. Kizingiramu omuntu okumenya amateeka ga Katonda ng’akola ekintu ekikyamu oba ekitali kya butuukirivu mu maaso ga Katonda. (1 Yokaana 3:4; 5:17) Bayibuli era eraga nti omuntu bw’alemererwa okukola ekituufu, aba akoze ekibi.—Yakobo 4:17.
Mu nnimi ezaakozesebwa okuwandiika Bayibuli, ekigambo ekyavvuunulwa ekibi kitegeeza “okulemererwa okuteeba ekintu.” Ng’ekyokulabirako, waaliwo abasirikale mu Isirayiri ey’edda abaali abakugu ennyo mu kukozesa envuumuulo ne kiba nti baali basobola n’okuteeba “akantu akenkana ng’oluviiri.” Ebigambo ebyo bwe bivvuunulwa obutereevu, byandibadde bisoma nti “baali tebasobola kukola kibi.” (Ekyabalamuzi 20:16) N’olwekyo, okukola ekibi kitegeeza okulemererwa okutuukana n’emitindo gya Katonda egituukiridde.
Olw’okuba Katonda ye yatutonda, alina obuyinza okututeerawo emitindo gy’okugoberera. (Okubikkulirwa 4:11) Tuvunaanyizibwa gy’ali olw’engeri gye tweyisaamu.—Abaruumi 14:12.
Kisoboka okwewalira ddala okukola ekibi?
Nedda. Bayibuli egamba nti “bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23; 1 Bassekabaka 8:46; Omubuulizi 7:20; 1 Yokaana 1:8) Lwaki kiri bwe kityo?
Abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, tebaalina kibi mu kusooka. Kyali bwe kityo kubanga baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda era baali batuukiridde. (Olubereberye 1:27) Kyokka bwe baajeemera Katonda, baafuuka abantu abatatuukiridde. (Olubereberye 3:5, 6, 17-19) Bwe baazaala abaana, baabasikiza ekibi n’obutali butuukirivu. (Abaruumi 5:12) Kabaka Dawudi yagamba nti: “Nnazaalibwa ndiko ekibi.”—Zabbuli 51:5.
Ebibi ebimu bya maanyi okusinga ebirala?
Yee. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti abantu b’omu Sodomu “baali babi era nga boonoonyi nnyo,” era nti ‘ekibi kyabwe kyali kinene nnyo.’ (Olubereberye 13:13; 18:20) Ka tulabe ebintu bisatu ebisinziirwako okumanya obanga ekibi kya maanyi oba nedda.
Ekika ky’ekibi. Bayibuli etulabula obutakola bibi bya maanyi gamba ng’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, okusinza ebifaananyi, okubba, okutamiira, okunyaga, okutta, n’okwenyigira mu by’obusamize. (1 Abakkolinso 6:9-11; Okubikkulirwa 21:8) Bayibuli era eyogera ku kibi omuntu ky’akola nga tasoose kulowooza oba nga tagenderedde, gamba ng’okukola ebintu oba okwogera ebigambo ebirumya abalala. (Engero 12:18; Abeefeso 4:31, 32) Kyokka Bayibuli etulabula obutatwala kibi kyonna nti kitono, kubanga kiyinza okutuviirako okukola ebibi eby’amaanyi ne tumenya amateeka ga Katonda.—Matayo 5:27, 28.
Ekigendererwa. Ebibi ebimu abantu babikola olw’okuba baba tebamanyi Katonda by’ayagala. (Ebikolwa 17:30; 1 Timoseewo 1:13) Wadde ng’ebibi ng’ebyo Bayibuli tebibuusa maaso, eraga nti biba bya njawulo ku ebyo omuntu by’aba akoze mu bugenderevu. (Okubala 15:30, 31) Omuntu akola ekibi mu bugenderevu ‘omutima gwe guba mubi.’—Yeremiya 16:12.
Emirundi. Bayibuli era eraga nti waliwo enjawulo wakati w’omuntu okukola ekibi omulundi gumu, n’okukola ekibi enfunda n’enfunda okumala ekiseera. (1 Yokaana 3:4-8) Abo ‘abakola ekibi mu bugenderevu,’ n’oluvannyuma lw’okumanya ekituufu, Katonda ajja kubasalira omusango.—Abebbulaniya 10:26, 27.
Omuntu eyakola ekibi eky’amaanyi ayinza okuwulira ng’omutima gwe gumulumiriza nnyo olw’ekibi kye yakola. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi yagamba nti: “Ensobi zange zeetuumye ku mutwe gwange; ziringa omugugu omuzito, siyinza kuzeetikka.” (Zabbuli 38:4) Naye abantu ng’abo Bayibuli ebagumya. Egamba nti: “Omubi aleke ekkubo lye n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye; akomewo eri Yakuwa anaamusaasira, eri Katonda waffe, kubanga ajja kusonyiyira ddala.”—Isaaya 55:7.