Baani Abawandiikibwa mu “Kitabo ky’Obulamu”?
Bayibuli ky’egamba
“Ekitabo ky’obulamu,” era ekiyitibwa “omuzingo ogw’obulamu” oba “ekitabo eky’okujjukiza,” kirimu amannya g’abo abagenda okufuna obulamu obutaggwaawo. (Okubikkulirwa 3:5; 20:12; Malaki 3:16) Katonda y’asalawo abantu abawandiikibwa mu kitabo ekyo ng’asinziira ku bwesigwa bwabwe.—Yokaana 3:16; 1 Yokaana 5:3.
Katonda ajjukira buli muweereza we omwesigwa, bw’atyo n’aba ng’eyawandiika amannya gaabwe mu kitabo “okuva ku ntandikwa y’ensi.” (Okubikkulirwa 17:8) Erinnya lya Abbeeri omusajja eyali omwesigwa kirabika lye lyasooka okuwandiikibwa mu kitabo ky’obulamu. (Abebbulaniya 11:4) Yakuwa tawandiika buwandiisi mannya kujjuza lukalala, wabula ekitabo ky’obulamu kiraga nti Yakuwa Katonda alina okwagala kungi era nti “amanyi ababe.”—2 Timoseewo 2:19; 1 Yokaana 4:8.
Amannya gasobola okusangulwa “mu kitabo ky’obulamu”?
Yee. Katonda yagamba Abayisirayiri abaali abajeemu nti: “Buli ayonoonye mu maaso gange, gwe nja okusangula mu kitabo kyange.” (Okuva 32:33) Naye bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Katonda, amannya gaffe gajja kusigala mu “muzingo ogw’obulamu.”—Okubikkulirwa 20:12.