Ensi Eneezikirizibwa?
Bayibuli ky’egamba
Nedda, ensi tejja kuzikirizibwa, kwokebwa muliro, oba okuggibwawo. Bayibuli eraga nti Katonda yatonda ensi ng’ayagala abantu bagibeeremu emirembe gyonna.
“Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
‘[Katonda] yateeka ensi ku misingi gyayo; teriggibwa mu kifo kyayo emirembe n’emirembe.’—Zabbuli 104:5.
“Ensi ebeerawo emirembe n’emirembe.”—Omubuulizi 1:4.
“Eyatonda ensi, eyagikola n’aginyweza, . . . teyagitondera bwereere, wabula yagitonda okubeeramu abantu.”—Isaaya 45:18.
Abantu banaayonoonera ddala ensi?
Katonda tajja kukkiriza bantu kwonoonera ddala butonde bwa nsi oba okugisaanyaawo nga bayitira mu ntalo oba mu ngeri endala. Mu kifo ky’ekyo ajja “kuzikiriza abo aboonoona ensi.” (Okubikkulirwa 11:18) Ekyo anaakikola atya?
Katonda ajja kuggyawo gavumenti z’abantu eziremereddwa okulabirira ensi ateekewo Obwakabaka bwe obw’omu ggulu. (Danyeri 2:44; Matayo 6:9, 10) Omwana wa Katonda Yesu Kristo ye yalondebwa okuba kabaka w’Obwakabaka obwo. (Isaaya 9:6, 7) Yesu bwe yali ku nsi yalaga nti alina obuyinza ku butonde. (Makko 4:35-41) Yesu bw’anaaba atandise okufuga ensi, ajja kuba n’obuyinza ku nsi yonna ne ku butonde. Ajja kutereeza ensi ebeere ng’olusuku Edeni bwe lwali.—Matayo 19:28; Lukka 23:43.
Ddala Bayibuli eyigiriza nti ensi ejja kwokebwa omuliro?
Nedda. Endowooza eyo enkyamu eva ku kutegeera obubi ebigambo ebiri mu 2 Peetero 3:7, awagamba nti: “Eggulu n’ensi ebiriwo kati biterekeddwa omuliro.” Ka tulabe ebisobola okutuyamba okutegeera amakulu g’ebigambo ebyo:
Bayibuli ekozesa ebigambo “eggulu,” “ensi,” “n’omuliro” ng’etegeeza ebintu bya njawulo. Ng’ekyokulabirako, Olubereberye 11:1 wagamba nti: “Ensi yonna yalina olulimi lumu.” Wano ekigambo “ensi” kitegeeza abantu.
Ennyiriri eziriraanye 2 Peetero 3:7 ziraga amakulu g’ebigambo eggulu, ensi, n’omuliro ebikozesebwa mu lunyiriri olwo. Olunyiriri 5 ne 6 zoogera ku mataba ag’omu kiseera kya Nuuwa. Ennyiriri ezo ziraga nti ensi ey’omu kiseera ekyo yazikirizibwa. Kyokka abantu ababi be baazikirizibwa naye ensi kwe tuli yasigalawo. (Olubereberye 6:11) Ate era amataba ago gaasaanyawo “eggulu” kwe kugamba abantu abaali bafuga mu kiseera ekyo. Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo ne beeyongera okubeera ku nsi oluvannyuma lw’amataba.—Olubereberye 8:15-18.
Okufaananako amataba agaaliwo mu kiseera kya Nuuwa, “omuliro” ogwogerwako mu 2 Peetero 3:7 gutegeeza okuzikirizibwa kw’abantu ababi so si ensi kwe tuli. Katonda asuubiza nti wajja kubaawo “eggulu eriggya n’ensi empya, era nga muno obutuukirivu mwe bulibeera.” (2 Peetero 3:13) “Ensi empya” be bantu abakola Katonda by’ayagala, ate “eggulu eriggya” bwe Bwakabaka bwa Katonda obujja okufuga abantu abo. Ensi yonna ejja kufuuka ekifo ekirabika obulungi era ng’erimu emirembe mingi.—Okubikkulirwa 21:1-4.