Buuka ogende ku bubaka obulimu

Obunnabbi Obukwata ku Masiya Bukakasa nti Yesu Ye Masiya?

Obunnabbi Obukwata ku Masiya Bukakasa nti Yesu Ye Masiya?

Bayibuli ky’egamba

 Yee. Yesu bwe yali ku nsi yatuukiriza obunnabbi bungi obukwata ku “Masiya Omukulembeze,” eyandibadde “Omulokozi w’ensi.” (Danyeri 9:25; 1 Yokaana 4:14) Era n’oluvannyuma lw’okufa kwe, yeeyongera okutuukiriza obunnabbi obukwata ku Masiya.—Zabbuli 110:1; Ebikolwa 2:34-36.

 “Masiya” kitegeeza ki?

 Ekigambo ky’Olwebbulaniya Ma·shiʹach (Masiya) n’eky’Oluyonaani Khri·stos (Kristo), byombi bitegeeza “Eyafukibwako Amafuta.” N’olwekyo, erinnya “Yesu Kristo” litegeeza “Yesu Eyafukibwako Amafuta,” oba “Yesu Masiya.”

 Mu biseera eby’edda, omuntu bwe yalondebwanga okuba mu kifo eky’enjawulo, yafukibwangako amafuta ku mutwe. (Eby’Abaleevi 8:12; 1 Samwiri 16:13) Yesu yalondebwa Katonda okuba Masiya, era ekifo ekyo kya waggulu nnyo. (Ebikolwa 2:36) Naye mu kifo ky’okumufukako amafuta, Katonda yamufukako omwoyo omutukuvu.—Matayo 3:16.

 Abantu abasukka mu omu bandisobodde okutuukiriza obunnabbi obukwata ku Masiya?

 Nedda. Ng’ekinkumu bwe kiba eky’omuntu omu n’okutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Bayibuli kusonga ku Masiya omu oba Kristo. Naye Bayibuli eraga nti “Bakristo ab’obulimba ne bannabbi ab’obulimba balijja, era balikola obubonero obw’amaanyi n’ebyewuunyisa okukyamya abantu, bwe kiba kisoboka bakyamye n’abalonde.”—Matayo 24:24.

 Masiya wa kulabika mu biseera bya mu maaso?

 Nedda. Bayibuli yalaga nti Masiya yandivudde mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi owa Isirayiri. (Zabbuli 89:3, 4) Kyokka, ebiwandiiko okuli olukalala lw’Abayudaaya abaava mu lunyiriri lwa Dawudi tebikyaliwo. Oboolyawo Abaruumi baabisaanyaawo bwe baawamba ekibuga Yerusaalemi mu mwaka gwa 70 E.E. a Okuva mu kiseera ekyo, tewali n’omu asobodde kukakasa nti ava mu lulyo olulangira olwa Dawudi. Ku luuyi olulala, Yesu bwe yali ku nsi yalaga nti yali ava mu lunyiriri lwa Dawudi era n’abalabe be tebaakiwakanya wadde ng’ebiwandiiko ebyo byali bikyaliwo.—Matayo 22:41-46.

 Obunnabbi obukwata ku Masiya buli bumeka mu Bayibuli?

 Tekisoboka kumanya muwendo gwennyini ogw’obunnabbi obukwata ku Masiya obuli mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, engeri y’okubalamu obunnabbi eyinza okwawukana ne bwe kituuka ku byawandiikibwa ebirimu obunnabbi obukwata ku Masiya. Isaaya 53:2-7 woogera ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku Masiya. Abamu bayinza okutwala ekyawandiikibwa ekyo kyonna ng’obunnabbi obw’omulundi ogumu, ate abalala bayinza okutwala ebintu ebiri mu kyawandiikibwa ekyo ng’obunnabbi obw’emirundi egy’enjawulo.

 Obumu ku bunnabbi obukwata ku Masiya Yesu bwe yatuukiriza

Obunnabbi

We busangibwa

Okutuukirizibwa

Yali zzadde lya Ibulayimu

Olubereberye 22:17, 18

Matayo 1:1

Yali muzzukulu wa Isaaka omwana wa Ibulayimu

Olubereberye 17:19

Matayo 1:2

Yazaalibwa mu kika kya Yuda

Olubereberye 49:10

Matayo 1:1, 3

Yava mu lulyo olulangira olwa Kabaka Dawudi

Isaaya 9:7

Matayo 1:1

Yazaalibwa omuwala embeerera

Isaaya 7:​14

Matayo 1:​18, 22, 23

Yazaalibwa mu Besirekemu

Mikka 5:2

Matayo 2:​1, 5, 6

Yatuumibwa erinnya Emmanweri b

Isaaya 7:​14

Matayo 1:​21-​23

Yakulira mu maka amaavu

Isaaya 53:2

Lukka 2:7

Abaana abato battibwa oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwe

Yeremiya 31:15

Matayo 2:​16-​18

Yayitibwa okuva e Misiri

Koseya 11:1

Matayo 2:​13-​15

Yayitibwa Omunnazaaleesi c

Isaaya 11:1

Matayo 2:​23

Omubaka yamuteekerateekera ekkubo

Malaki 3:1

Matayo 11:​7-​10

Yalondebwa okuba Masiya mu mwaka gwa 29 E.E. d

Danyeri 9:​25

Matayo 3:​13-​17

Katonda yamuyita Omwana we

Zabbuli 2:7

Ebikolwa 13:33, 34

Yayagala nnyo ennyumba ya Katonda

Zabbuli 69:9

Yokaana 2:​13-​17

Yali mubuulizi w’amawulire amalungi

Isaaya 61:1

Lukka 4:​16-​21

Obuweereza bwe mu Ggaliraaya bwali kitangaala kya maanyi

Isaaya 9:​1, 2

Matayo 4:​13-​16

Yakola ebyamagero nga Musa

Ekyamateeka 18:15

Ebikolwa 2:​22

Okufaananako Musa, yabuulira abalala ebyo Katonda bye yamulagira

Ekyamateeka 18:18, 19

Yokaana 12:49

Yawonya abalwadde bangi

Isaaya 53:4

Matayo 8:​16, 17

Teyeegulumiza

Isaaya 42:2

Matayo 12:17, 19

Yasaasiranga abanaku

Isaaya 42:3

Matayo 12:​9-​20; Makko 6:​34

Yayoleka obwenkanya bwa Katonda

Isaaya 42:​1, 4

Matayo 12:17-​20

Yali Muwi w’Amagezi ow’Ekitalo

Isaaya 9:​6, 7

Yokaana 6:​68

Yabuulira abantu erinnya lya Katonda

Zabbuli 22:22

Yokaana 17:6

Yayogeranga mu ngero

Zabbuli 78:2

Matayo 13:34, 35

Yali Mukulembeze

Danyeri 9:​25

Matayo 23:10

Bangi tebaamukkiririzaamu

Isaaya 53:1

Yokaana 12:37, 38

Yali lwazi olw’okwesittalako

Isaaya 8:​14, 15

Matayo 21:42-​44

Bangi baamugaana

Zabbuli 118:22, 23

Ebikolwa 4:​10, 11

Yakyayibwa awatali nsonga

Zabbuli 69:4

Yokaana 15:24, 25

Yayingira mu Yerusaalemi mu kitiibwa nga yeebagadde endogoyi

Zekkaliya 9:9

Matayo 21:​4-9

Abaana baamutendereza

Zabbuli 8:2

Matayo 21:15, 16

Yajjira mu linnya lya Yakuwa

Zabbuli 118:26

Yokaana 12:12, 13

Mukwano gwe gwe yali yeesiga yamulyamu olukwe

Zabbuli 41:9

Yokaana 13:18

Yaliibwamu olukwe olw’ebitundu bya ffeeza 30 e

Zekkaliya 11:12, 13

Matayo 26:14-​16; 27:​3-​10

Mikwano gye baamwabulira

Zekkaliya 13:7

Matayo 26:31, 56

Abajulizi ab’obulimba baamuwaayiriza

Zabbuli 35:11

Matayo 26:59-​61

Yasirika nga bamulumiriza

Isaaya 53:7

Matayo 27:12-​14

Baamuwandulira amalusu

Isaaya 50:6

Matayo 26:67; 27:27, 30

Baamukuba ku mutwe

Mikka 5:1

Makko 15:19

Baamukuba emiggo

Isaaya 50:6

Yokaana 19:1

Teyaziyiza abo abaamukuba

Isaaya 50:6

Yokaana 18:22, 23

Abafuzi b’ensi beekobaana okumutta

Zabbuli 2:2

Lukka 23:10-​12

Yakomererwa ku muti ebigere bye n’emikono gye ne biyitamu emisumaali

Zabbuli 22:16

Matayo 27:35; Yokaana 20:25

Engoye ze baazikubira akalulu

Zabbuli 22:18

Yokaana 19:23, 24

Yabalirwa wamu n’aboonoonyi

Isaaya 53:12

Matayo 27:38

Yavumibwa

Zabbuli 22:​7, 8

Matayo 27:39-​43

Yabonaabona ku lw’aboonoonyi

Isaaya 53:​5, 6

1 Peetero 2:​23-​25

Katonda yalinga amwabulidde

Zabbuli 22:1

Makko 15:34

Yaweebwa omwenge omukaatuufu

Zabbuli 69:21

Matayo 27:34

Ennyonta yamuluma ng’anaatera okufa

Zabbuli 22:15

Yokaana 19:28, 29

Yawaayo omwoyo gwe eri Katonda

Zabbuli 31:5

Lukka 23:46

Yawaayo obulamu bwe

Isaaya 53:12

Makko 15:37

Yawaayo ekinunulo okuggyawo ekibi

Isaaya 53:12

Matayo 20:28

Amagumba ge tegaamenyebwa

Zabbuli 34:20

Yokaana 19:31-​33, 36

Yafumitibwa

Zekkaliya 12:10

Yokaana 19:33-​35, 37

Yaziikibwa wamu n’abagagga

Isaaya 53:9

Matayo 27:57-​60

Yazuukizibwa okuva mu bafu

Zabbuli 16:10

Ebikolwa 2:​29-​31

Baalonda ow’okudda mu kifo ky’oyo eyamulyamu olukwe

Zabbuli 109:8

Ebikolwa 1:​15-​20

Yatuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo

Zabbuli 110:1

Ebikolwa 2:​34-​36

a Ekitabo ekiyitibwa McClintock and Strong’s Cyclopedia kigamba nti: “Awatali kubuusabuusa ebiwandiiko ebyalimu olukalala lw’ebika by’Abayudaaya n’eb’ennyumba zaabwe byasaanyizibwawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa, so si nga tekinnaba kuzikirizibwa.”

b Erinnya Emmanweri ery’Olwebbulaniya, eritegeeza nti “Katonda Ali Naffe,” liraga bulungi obuvunaanyizibwa Yesu bw’alina nga Masiya. Okujja kwe ku nsi ne bye yakola biraga nti Katonda ali wamu n’abaweereza be.—Lukka 2:27-32; 7:12-16.

c Ekigambo “Omunnazaaleesi” kiyinza okuba nga kiva mu kigambo neʹtser eky’Olwebbulaniya, ekitegeeza “omutunsi.”

d Okumanya ebisingawo ebikwata ku mwaka gwa 29 E.E. Masiya mwe yalabikira, soma ekitundu ekirina omutwe, “Obunnabbi bwa Danyeri Kye Bwogera ku Kujja kwa Masiya.”

e Obunnabbi buno busangibwa mu kitabo kya Zekkaliya, kyokka Matayo agamba nti obunnabbi obwo ‘bwayogerwa nnabbi Yeremiya.’ (Matayo 27:9) Kirabika ekitabo kya Yeremiya kyasooka kuteekebwa mu bitabo bya Bayibuli ebiyitibwa “Bannabbi.” (Lukka 24:44) Era kirabika Matayo yayogera ku “Yeremiya” ng’ategeeza ebitabo ebyo byonna, nga mwe mwali n’ekitabo kya Zekkaliya.