Oyinza Otya Okumanya Katonda?
Bayibuli ky’egamba
Osobola okumanya Katonda ng’oyiga ebimukwatako era ng’obaako by’okola okusobola okumusanyusa. Bw’onookola bw’otyo, ‘Katonda ajja kukusemberera.’ (Yakobo 4:8) Bayibuli etukakasa nti “tali wala wa buli omu ku ffe.”—Ebikolwa 17:27.
By’olina okukola okusobola okumanya Katonda
Soma Bayibuli
Bayibuli ky’egamba: “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.”—2 Timoseewo 3:16.
Kye kitegeeza: Katonda ye yawandiisa Bayibuli. Yassa ebirowoozo bye mu birowoozo by’abo abaawandiika Bayibuli. Ng’ayitira mu kitabo ekyo eky’enjawulo ennyo, Katonda atubuulira ekigendererwa ky’alina gye tuli. Ate era atubuulira engeri ze, gamba ng’okwagala, obwenkanya, n’obusaasizi.—Okuva 34:6; Ekyamateeka 32:4.
Ky’oyinza okukola: Soma Bayibuli buli lunaku. (Yoswa 1:8) Fumiitiriza ku by’osoma, nga weebuuza nti: ‘Kino kinjigiriza ki ku Katonda?’—Zabbuli 77:12.
Ng’ekyokulabirako, soma Yeremiya 29:11, era weebuuze nti: ‘Kiki Katonda kyanjagaliza—mirembe oba kabi? Ye Katonda eyeesasuza oba ayagala mbeere n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?’
Weetegereze ebitonde
Bayibuli ky’egamba: “Engeri [ za Katonda] ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’Obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa.”—Abaruumi 1:20.
Kye kitegeeza: Ebintu Katonda bye yatonda byoleka engeri ze, ng’ekifaananyi bwe kisobola okulaga bingi ebikwata ku oyo eyakisiiga, oba ng’ekyuma bwe kisobola okulaga bingi ebikwata ku oyo eyakikola. Ng’ekyokulabirako, obwongo bw’omuntu bwoleka amagezi ga Katonda, era n’amaanyi agali mu njuba ne mu mmunyeenye endala gooleka amaanyi ga Katonda.—Zabbuli 104:24; Isaaya 40:26.
Ky’oyinza okukola: Funayo obudde okwetegereza n’okuyiga ebikwata ku butonde. Bw’oba okikola, weebuuze, ‘Ebintu ebyewuunyisa ebyatondebwa biraga ki ku Katonda?’ a Kyo kituufu nti, waliwo ebintu bingi ebikwata ku Mutonzi waffe bye tutasobola kuyigira ku butonde. Eyo ye nsonga lwaki yatuwa Bayibuli.
Kozesa erinnya lya Katonda
Bayibuli ky’egamba: “Ndimukuuma kubanga amanyi erinnya lyange. Alinkoowoola, nange ndimwanukula.”—Zabbuli 91:14, 15.
Kye kitegeeza: Katonda, ng’erinnya lye ye Yakuwa, afaayo nnyo ku abo abamanyi erinnya lye era abalikozesa mu ngeri emuweesa ekitiibwa. b (Zabbuli 83:18; Malaki 3:16) Katonda bw’atubuulira erinnya lye, aba atweyanjulidde. Agamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.”—Isaaya 42:8.
Ky’oyinza okukola: Bw’oba oyogera ku Katonda, kozesa erinnya lye Yakuwa.
Yogera ne Yakuwa ng’oyitira mu kusaba
Bayibuli ky’egamba: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.”—Zabbuli 145:18.
Kye kitegeeza: Yakuwa abeera kumpi n’abo abamusaba nga balina okukkiriza. Okusaba kitundu kya kusinza era kulaga nti Katonda tumussaamu ekitiibwa.
Ky’oyinza okukola: Saba Katonda buli kiseera. (1 Abassessalonika 5:17) Mubuulire ebikweraliikiriza era n’engeri gye weewuliramu.—Zabbuli 62:8. c
Nyweza okukkiriza kwo mu Katonda
Bayibuli ky’egamba: “Awatali kukkiriza tekisoboka kusanyusa Katonda.”—Abebbulaniya 11:6.
Kye kitegeeza: Okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, tulina okuba nga tumukkiririzaamu. Okusinziira ku Bayibuli, okuba n’okukkiriza kisingawo ku kukkiriza obukkiriza nti Katonda gy’ali. Ate era kitegeeza okumwesigira ddala, nga mw’otwalidde okwesiga ebisuubizo bye era n’emitindo gye. Okusobola okuba n’enkolagana ennungi n’omuntu olina okuba ng’omwesiga.
Ky’oyinza okukola: Okusobola okuba n’okukkiriza okwa nnamaddala olina okufuna okumanya. (Abaruumi 10:17) N’olwekyo, soma Bayibuli era weekakasize nti osobola okwesiga Katonda n’amagezi ge. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okusoma naawe Bayibuli. d
Kola ebisanyusa Katonda
Bayibuli ky’egamba: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye.”—1 Yokaana 5:3.
Kye kitegeeza: Yakuwa abeera kumpi n’abo abalaga nti bamwagala nga bakola kyonna kye basobola okukwata amateeka ge.
Ky’oyinza okukola: Bw’oba osoma Bayibuli, weetegereze ebyo Katonda by’ayagala ne by’atayagala. Weebuuze, ‘Nkyukakyuka ki ze nsaanidde okukola okusobola okusanyusa Omutonzi wange?’—1 Abassessalonika 4:1.
Kolera ku magezi ga Katonda osobole okufuna obuyambi bwe
Bayibuli ky’egamba: “Bw’onoolaba by’akukoledde ojja kukiraba nti [Katonda] mulungi.”—Zabbuli 34:8, The Bible in Basic English.
Kye kitegeeza: Katonda ayagala weerabireko gwe kennyini engeri gy’ali omulungi. Bw’onoolaba okwagala kw’akulaga n’obuyambi bw’akuwa, ojja kwagala okufuuka mukwano gwe.
Ky’oyinza okukola: Bw’oba osoma Bayibuli, kolera ku magezi ga Katonda agagirimu osobole okuganyulwa. (Isaaya 48:17, 18) Ate era, weetegereze abo abaakolera ku magezi ga Katonda ne basobola okuvvuunuka ebizibu, obulamu bwabwe ne bulongooka, amaka gaabwe ne gatereera, era ne bafuna essanyu erya nnamaddala. e
Endowooza enkyamu ezikwata ku kumanya Katonda
Endowooza enkyamu: Katonda wa waggulu nnyo era wa maanyi nnyo ne kiba nti tasobola kubeera mukwano gwaffe.
Ekituufu: Wadde nga Katonda y’asingayo okuba ow’amaanyi era ow’ekitiibwa, ayagala tubeere mikwano gye. Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abasajja n’abakazi abafuuka mikwano gya Katonda.—Ebikolwa 13:22; Yakobo 2:23.
Endowooza enkyamu: Tetusobola kumanya Katonda olw’okuba tategeerekeka.
Ekituufu: Ebintu ebimu ebikwata ku Katonda bizibu okutegeera, gamba ng’eky’okuba nti mwoyo ogutalabika. Wadde kiri kityo, tusobola okumumanya. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti twetaaga okumumanya okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 17:3) Bayibuli ekozesa ebigambo bye tusobola okutegeera ng’etubuulira ebikwata ku Mutonzi waffe, engeri ze, ekigendererwa kye eri abantu n’ensi, era n’emitindo gye. (Isaaya 45:18, 19; 1 Timoseewo 2:4) Nga bwe twalabye, Bayibuli era etubuulira erinnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) N’olwekyo, ng’oggyeeko okumanya Katonda, era tusobola okufuuka mikwano gye.—Yakobo 4:8.
a Okusobola okumanya ebimu ku bitonde ebyoleka amagezi ga Katonda, laba ekitundu, “Kyajjawo Kyokka?”
b Bangi bakimanyi nti erinnya Yakuwa litegeeza nti “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Katonda okutubuulira erinnya lye abeera ng’agamba nti: ‘Nja kuleetera ekyo kye njagala n’ekigendererwa kyange okutuukirira. Nja kutuukiriza ekigambo kyange.’
c Laba ekitundu, “Kikulu Okusaba? Katonda Anaddamu Essaala Zange?”
d Okumanya ebisingawo, laba vidiyo, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?
e Laba ekitundu, “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu.”