Okunywa Sigala Kibi mu Maaso ga Katonda?
Bayibuli ky’egamba
Bayibuli teyogera ku kunywa sigala a oba ku ngeri endala gye bakozesaamu taaba. Kyokka erimu emisingi egiraga nti Katonda tasanyukira mize emibi egikosa obulamu. N’olwekyo okunywa sigala akitwala ng’ekibi mu maaso ge.
Okussa ekitiibwa mu bulamu. ‘Katonda y’awa abantu bonna obulamu n’omukka gwe bassa.’ (Ebikolwa 17:24, 25) Olw’okuba obulamu kirabo okuva eri Katonda, tetusaanidde kukola kintu kyonna ekiyinza okubukendeezaako gamba ng’okunywa sigala. Okunywa sigala kye kimu ku bisinga okuleetera abantu okufa amangu.
Okwagala bantu bannaffe. “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” (Matayo 22:39) Okunywera sigala mu bantu tekiraga kwagala. Abo abasika omukka gwa sigala nabo basobola okufuna obulwadde abo abanywa sigala bwe bafuna.
Okuba abatukuvu. ‘Muweeyo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esiimibwa Katonda.’ (Abaruumi 12:1) “Ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo, obutukuvu bwaffe butuukirire mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) Okuba omutukuvu kitegeeza okuba omuyonjo. Omuntu anywa sigala taba muyonjo kubanga aba asika omuka ogw’obutwa ogw’onoona omubiri gwe.
Bayibuli erina kyonna ky’eyogera ku kunywa enjaga oba okukozesa ebiragalalagala ebirala mu ngeri ey’okwesanyusaamu?
Bayibuli teyogera butereevu ku njaga oba ebiragalalagala ebirala. Naye erimu emisingi egivumirira okukozesa ebiragalalagala ng’ebyo mu ngeri ey’okwesanyusaamu. Okugatta ku misingi gye twogeddeko waggulu, lowooza ne ku gino wammanga:
Okukuuma ebirowoozo byaffe nga bikola bulungi. “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo . . . n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37, 38) “Mubeere nga mutegeera bulungi.” (1 Peetero 1:13) Omuntu tasobola kukuuma birowoozo bye nga bikola bulungi bw’aba ng’akozesa ebiragalalagala, ate bangi bafuna omuze ogw’okukozesa ebiragalalagala ng’ebyo. Ebirowoozo byabwe babimalira ku kunoonya n’okukozesa ebiragalalagala mu kifo ky’okulowooza ku bintu ebizimba.—Abafiripi 4:8.
Okugondera ab’obuyinza. ‘Muwulire abafuzi n’ab’obuyinza.’ (Tito 3:1) Ensi nnyingi zirina amateeka agagaana okukozesa ebiragalalagala. Bwe tuba twagala okusanyusa Katonda tulina okugondera ab’obuyinza.—Abaruumi 13:1.
a Okunywa sigala okwogerwako wano kutegeeza okufuuweeta omuka gwa taaba mu ngeri ezitali zimu gamba ng’okufuuweeta eminwe gya sigala, emisokoto gya taaba, okunywa emmindi n’ebirala ebiri ng’ebyo. Kyokka emisingi egyogerwako gikwata ne ku kugaaya taaba, okumunuusa, okulya amayirungi n’ebirala ebiringa ebyo.