Bayibuli Eyigiriza Ki ku Kwogera mu Nnimi?
Bayibuli ky’egamba
“Okwogera mu nnimi” bwe busobozi Katonda bwe yawa abamu ku Bakristaayo abaasooka ne basobola okwogera ennimi ez’enjawulo wadde nga baali tebasoose kuziyiga. (Ebikolwa 10:46) Omuntu yenna eyabanga amanyi ennimi ezo yategeeranga bulungi bye baabanga boogera. (Ebikolwa 2:4-8) Okwogera mu nnimi kye kimu ku birabo eby’omwoyo omutukuvu Katonda bye yawa abamu ku Bakristaayo abaasooka.—Abebbulaniya 2:4; 1 Abakkolinso 12:4, 30.
Okwogera mu nnimi kwatandikira wa era kwatandika ddi?
Ekyamagero kino kyatandikira mu Yerusaalemi ku mbaga y’Abayudaaya eya Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Abayigirizwa ba Yesu nga 120 bwe baali bakuŋŋaanye wamu, ‘bonna bajjula omwoyo omutukuvu, ne batandika okwogera mu nnimi ez’enjawulo.’ (Ebikolwa 1:15; 2:1-4) Abantu bangi nnyo okuva “mu mawanga gonna agali wansi w’eggulu” baakuŋŋaana era “buli omu yawulira abayigirizwa nga boogera olulimi lwe.”—Ebikolwa 2:5, 6.
Okwogera mu nnimi kwalina kigendererwa ki?
Okulaga nti Katonda ye yali akozesa Abakristaayo. Mu biseera eby’edda, Katonda yasobozesa abaweereza be gamba nga Musa okukola ebyamagero okulaga nti ye yali abakozesa. (Okuva 4:1-9, 29-31; Okubala 17:10) Okwogera mu nnimi nakwo kwalina ekigendererwa kye kimu eky’okulaga nti Katonda ye yali akozesa ekibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandikibwawo. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ennimi kabonero eri abatali bakkiriza so si eri abakkiriza.”—1 Abakkolinso 14:22.
Okusobozesa Abakristaayo okubuulira mu bujjuvu. Abo abaawuliriza abayigirizwa ba Yesu ku lunaku lwa Pentekooti baagamba nti: “Ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi zaffe ku bintu bya Katonda eby’ekitalo.” (Ebikolwa 2:11) N’olwekyo, ekigendererwa ekirala eky’okwogera mu nnimi kyali kya kusobozesa Abakristaayo “okuwa obujulirwa mu bujjuvu” era ‘n’okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa,’ nga Yesu bwe yabalagira. (Ebikolwa 10:42; Matayo 28:19) Abantu nga 3,000 abaalaba ekyamagero ekyo era ne bawuliriza ebyo abatume bye baayigiriza, baafuka bagoberezi ba Yesu ku lunaku olwo lwennyini.—Ebikolwa 2:41.
Okwogera mu nnimi kwandibaddewo ebbanga lyonna?
Nedda. Ebirabo by’omwoyo omutukuvu nga mw’otwalidde n’eky’okwogera mu nnimi tebyali bya kubeerawo lubeerera. Bayibuli egamba nti: “Wadde nga waliwo ebirabo eby’okwogera obunnabbi, bijja kukoma; wadde nga waliwo ennimi, zijja kukoma.”—1 Abakkolinso 13:8.
Okwogera mu nnimi kwakoma ddi?
Ebirabo eby’omwoyo omutukuvu byaweebwanga Abakristaayo abalala ng’abatume weebali, era ebiseera ebisinga abatume be bassanga emikono ku Bakristaayo abalala ne bafuna ebirabo ebyo. (Ebikolwa 8:18; 10:44-46) Kirabika abo abaafunanga ebirabo okuva eri abatume tebaabiwanga balala. (Ebikolwa 8:5-7, 14-17) Ng’ekyokulabirako, omukungu wa gavumenti ayinza okuwa omuntu pamiti y’okuvuga emmotoka naye omuntu oyo aba taweereddwa buyinza kuwa muntu mulala yenna pamiti. Kirabika abatume awamu n’abo abaafuna ekirabo eky’okwogera mu nnimi okuva gye bali bwe baafa, ekirabo ekyo ne kikoma.
Ate abo aboogera mu nnimi leero?
Ekirabo eky’okwogera mu nnimi kirabika kyakoma ng’ekyasa ekyasooka kinaatera okuggwaako. Tewali n’omu leero ayinza kugamba nti Katonda y’amuwa obusobozi obw’okwogera mu nnimi. a
Abakristaayo ab’amazima oyinza kubamanyira ku ki?
Yesu yagamba nti abagoberezi be ab’amazima twandibategeeredde ku kwagala kwe balaga. (Yokaana 13:34, 35) Omutume Pawulo naye yalaga nti okwagala kwe kwandyawuddewo Abakristaayo ab’amazima. (1 Abakkolinso 13:1, 8) Yalaga nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwe gwandisobozesezza Abakristaayo okwoleka engeri ennungi eziri mu ‘kibala eky’omwoyo’ nga mwe muli n’okwagala.—Abaggalatiya 5:22, 23.
a Laba ekitundu, “Speaking in Tongues—Is It From God?” (“Okwogera mu Nnimi—Ddala Kuva Eri Katonda?”