Omwoyo Omutukuvu Kye Ki?
Bayibuli ky’egamba
Omwoyo omutukuvu ge maanyi ga Katonda g’akozesa. (Mikka 3:8; Lukka 1:35) Katonda bw’aba alina ekintu kyonna ky’ayagala kikolebwe, asindika omwoyo gwe omutukuvu ne kikolebwa.—Zabbuli 104:30; 139:7.
Mu Bayibuli, ekigambo “omwoyo” kyavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ruʹach n’eky’Oluyonaani pneuʹma. Emirundi egisinga ekigambo ekyo kiba kitegeeza amaanyi Katonda g’akozesa, oba omwoyo omutukuvu. (Olubereberye 1:2) Naye era Bayibuli ekozesa ebigambo ebyo okutegeeza ebintu ebirala:
Omukka.—Kaabakuuku 2:19; Okubikkulirwa 13:15.
Empewo oba embuyaga.—Olubereberye 8:1; Yokaana 3:8.
Amaanyi agali mu bintu ebiramu.—Yobu 34:14, 15.
Endowooza omuntu gy’aba nayo.—Okubala 14:24.
Katonda, n’ebitonde eby’omwoyo oba bamalayika.—1 Bassekabaka 22:21, obugambo obuli wansi; Yokaana 4:24.
Amakulu ago gonna galaga ekintu abantu kye batasobola kulaba, naye nga kikola ebintu ebitali bimu ebirabwako. Mu ngeri y’emu, “okufaananako empewo, omwoyo gwa Katonda tegulabika, era gwa maanyi.”—An Expository Dictionary of New Testament Words, ekyawandiikibwa W. E. Vine.
Bayibuli era eyogera ku mwoyo gwa Katonda ‘ng’emikono’ gye oba “engalo” ze. (Zabbuli 8:3; 19:1; Lukka 11:20; geraageranya Matayo 12:28.) Ng’omuweesi bw’akozesa emikono gye oba engalo ze okukola emirimu gye, ne Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okukola ebintu, gamba nga bino wammanga:
Ensi n’obwengula.—Zabbuli 33:6; Isaaya 66:1, 2.
Okuwandiisa Bayibuli.—2 Peetero 1:20, 21.
Ebyamagero abaweereza ba Katonda ab’edda bye baakola, n’omulimu gw’okubuulira gwe baakola n’obunyiikivu.—Lukka 4:18; Ebikolwa 1:8; 1 Abakkolinso 12:4-11.
Engeri ennungi abantu abagondera Katonda ze booleka.—Abaggalatiya 5:22, 23.
Omwoyo omutukuvu si katonda
Bayibuli bw’eyogera ku mwoyo omutukuvu ‘ng’emikono gya Katonda,’ ‘engalo ze,’ oba ‘omukka gwe,’ eba eraga nti omwoyo omutukuvu si katonda. (Okuva 15:8, 10) Lowooza ku kino, emikono gy’omuweesi tegisobola kukola kintu kyonna nga takozesezza bitundu birala eby’omubiri gwe, n’ebirowoozo bye. Mu ngeri y’emu, omwoyo gwa Katonda tegusobola kukola kintu kyonna okuggyako nga y’agulagidde. (Lukka 11:13) Bayibuli era egeraageranya omwoyo gwa Katonda ku mazzi, era egukwataganya n’ebintu ng’okukkiriza n’okumanya. Ebyo byonna biraga nti omwoyo omutukuvu si katonda.—Isaaya 44:3; Ebikolwa 6:5; 2 Abakkolinso 6:6.
Bayibuli etubuulira erinnya lya Yakuwa Katonda n’ery’omwana we, Yesu Kristo; naye terina wonna w’ekiragira nti omwoyo omutukuvu gulina erinnya. (Isaaya 42:8; Lukka 1:31) Siteefano bwe yafuna okwolesebwa yalaba Katonda ne Yesu Kristo, naye teyalaba mwoyo mutukuvu. Bayibuli egamba nti: ‘Ng’ajjudde omwoyo omutukuvu, yatunula mu ggulu n’alaba ekitiibwa kya Katonda n’ekya Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.’ (Ebikolwa 7:55) Omwoyo omutukuvu ge maanyi Katonda ge yakozesa okusobozesa Siteefano okufuna okwolesebwa okwo.
Endowooza enkyamu ezikwata ku mwoyo omutukuvu
Endowooza enkyamu: “Omwoyo omutukuvu” muntu era kitundu kya Tiriniti nga bwe kiragibwa mu 1 Yokaana 5:7, 8 mu nkyusa ya Bayibuli eya King James version.
Ekituufu: Enkyusa ya Bayibuli eya King James version eyongera mu 1 Yokaana 5:7, 8 ebigambo bino: “Mu ggulu, Kitaffe, Kigambo, n’Omwoyo Omutukuvu: abasatu bano bali omu. Era bali basatu abawa obujulirwa ku nsi.” Kyokka abanoonyereza bakizudde nti omutume Yokaana si ye yawandiika ebigambo ebyo, n’olwekyo tebirina kuba mu Bayibuli. Profesa Bruce M. Metzger yawandiika nti: “Ebigambo ebyo byayongerwamu bwongerwa era tebirina kuba mu Ndagaano Empya.”—A Textual Commentary on the Greek New Testament.
Endowooza enkyamu: Bayibuli eyogera ku mwoyo omutukuvu ng’omuntu era ekyo kiraga nti omwoyo omutukuvu muntu.
Ekituufu: Oluusi Ebyawandiikibwa byogera ku mwoyo omutukuvu ng’omuntu naye ekyo tekitegeeza nti omwoyo omutukuvu muntu. Bayibuli era eyogera ku magezi, okufa n’ekibi ng’omuntu. (Engero 1:20; Abaruumi 5:17, 21) Ng’ekyokulabirako, amagombe googerwako ‘ng’agagolokose,’ era ekibi kyogerwako ng’ekisendasenda era ekitta.—Isaaya 14:9; Abaruumi 7:8, 11.
Mu ngeri y’emu, omutume Yokaana bwe yali awandiika ebigambo Yesu bye yayogera, yayogera ku mwoyo omutukuvu ‘ng’omuyambi’ asobola okuwa obukakafu, obulagirizi, okwogera, okuwulira, okulangirira, okugulumiza, n’okufuna. (Yokaana 16:7-15) Naye ekyo tekitegeeza nti omwoyo omutukuvu katonda.
Endowooza enkyamu: Okubatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu kitegeeza nti omwoyo omutukuvu katonda.
Ekituufu: Emirundi egimu Bayibuli ekozesa ekigambo ‘erinnya’ okutegeeza amaanyi oba obuyinza. (Ekyamateeka 18:5, 19-22; Eseza 8:10) N’olwekyo omuntu okubatizibwa mu ‘linnya ly’omwoyo omutukuvu,’ kitegeeza nti akkiriza nti omwoyo omutukuvu gulina amaanyi, era nti gulina ekifo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda.—Matayo 28:19.
Endowooza enkyamu: Abatume ba Yesu n’abayigirizwa abalala ab’edda baali bakkiriza nti omwoyo omutukuvu muntu.
Ekituufu: Ekyo Bayibuli tekiraga era n’ebyafaayo tebikiraga. Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopædia Britannica kigamba nti: “Endowooza egamba nti omwoyo omutukuvu katonda . . . yava mu lukiiko lwa babisopu olwatuula mu Constantinople mu 381 ad.” Ekyo kyaliwo nga wayise emyaka 250 ng’omutume eyasembayo amaze okufa.