Lwaki Yesu Ayitibwa Mwana wa Katonda?
Bayibuli ky’egamba
Emirundi mingi Bayibuli eyita Yesu “Mwana wa Katonda.” (Yokaana 1:49) Ebigambo “Mwana wa Katonda” biraga nti Katonda ye Mutonzi, oba Ensibuko y’obulamu bwonna nga mw’otwalidde n’obwa Yesu. (Zabbuli 36:9; Okubikkulirwa 4:11) Bayibuli teyigiriza nti Katonda yazaala omwana ng’abantu bwe bazaala abaana.
Ate era Bayibuli eyita bamalayika “abaana ba Katonda ow’amazima.” (Yobu 1:6) Era Bayibuli egamba nti omuntu eyasooka, Adamu, yali ‘mwana wa Katonda.’ (Lukka 3:38) Kyokka, olw’okuba Yesu Katonda gwe yasooka okutonda era nga ye yekka gwe yeetondera kennyini, Bayibuli emwogerako ng’Omwana wa Katonda omubereberye.
Ddala Yesu yali abeera mu ggulu nga tannazaalibwa ku nsi?
Yee. Yesu yali abeera mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo nga tannaba kuzaalibwa ku nsi ng’omuntu. Yesu kennyini yagamba nti: “Saava mu ggulu kukola bye njagala, wabula eby’oyo eyantuma.”—Yokaana 6:38; 8:23.
Katonda yasooka kutonda Yesu nga tannaba kutonda kintu kirala kyonna. Bayibuli eyogera bw’eti ku Yesu:
‘Oyo ye . . . mubereberye w’ebitonde byonna.’—Abakkolosaayi 1:15.
Ye ‘mubereberye w’ebitonde bya Katonda.’—Okubikkulirwa 3:14.
Yesu yatuukiriza obunnabbi obukwata ku oyo ayogerwako nti, “ensibuko ye ya mu biseera eby’edda, mu nnaku ez’edda.”—Mikka 5:2; Matayo 2:4-6.
Yesu yali akola ki nga tannajja ku nsi?
Yalina ekifo ekya waggulu. Yesu bwe yali asaba yayogera ku kifo ekyo, yagamba nti: “Kitange, ngulumiza . . . mu kitiibwa kye nnalina nga ndi ku lusegere lwo ng’ensi tennabaawo.”—Yokaana 17:5.
Yayambako Kitaawe bwe yali atonda ebintu ebirala byonna. Yesu yakolera wamu ne Katonda “ng’omukozi omukugu.” (Engero 8:30) Bayibuli eyogera bw’eti ku Yesu: “Okuyitira mu ye ebintu ebirala byonna byatondebwa mu ggulu ne ku nsi.”—Abakkolosaayi 1:16.
Katonda yayitira mu Yesu okutonda ebintu ebirala byonna. Ebintu ebyo bizingiramu ebitonde eby’omwoyo awamu n’obwengula. (Okubikkulirwa 5:11) Mu ngeri emu, enkolagana eyaliwo wakati wa Katonda ne Yesu efaananako n’eyo ebaawo wakati w’omukubi wa pulaani n’omuzimbi. Omukubi wa pulaani y’akuba pulaani; omuzimbi n’akozesa pulaani eyo okuzimba.
Yakola nga Kigambo. Bayibuli bw’eba eyogera ku bulamu bwa Yesu nga tannajja ku nsi emuyita “Kigambo.” (Yokaana 1:1) Kirabika ekyo kitegeeza nti Katonda yakozesanga Omwana we okutuusa obubaka n’obulagirizi ku bitonde eby’omwoyo ebirala.
Ate era, kirabika Yesu yakola ng’Omwogezi wa Katonda eri abantu ku nsi. Kirabika Katonda yakozesa Yesu nga Kigambo bwe yali awa Adamu ne Kaawa obulagirizi mu lusuku Edeni. (Olubereberye 2:16, 17) Yesu ayinza okuba nga ye malayika eyakulembera eggwanga lya Isirayiri okuliyisa mu ddungu era Abayisirayiri gwe baalina okugondera.—Okuva 23:20-23. a
a Kigambo si ye malayika yekka Katonda gwe yakozesanga okuwa ebitonde bye ebirala obulagirizi. Ng’ekyokulabirako, yakozesa bamalayika abalala, ng’oggyeeko Omwana we Omubereberye, okuwa Abayisirayiri Amateeka.—Ebikolwa 7:53; Abaggalatiya 3:19; Abebbulaniya 2:2, 3.