Eby’Okukozesa mu Kuyiga Bayibuli
Eby’okukozesa bino bisobola okukuyamba okwesomesa ebiri mu Bayibuli mu ngeri eneekuganyula, osobole okugitegeera obulungi.
Soma Bayibuli ku Mukutu Gwaffe
Laba ebikwata ku Enkyusa ey’Ensi Empya, Bayibuli eyeesigika era ennyangu okusoma.
Videos for Bible Study
Vidiyo Ezanjula Ebitabo by’Omu Bayibuli
Ebikwata ku buli kitabo ky’omu Bayibuli.
Vidiyo—Enjigiriza za Bayibuli Enkulu
Vidiyo ennyimpimpi ezinnyonnyola eby’okuddamu Bayibuli by’ewa mu bibuuzo abantu bye batera okwebuuza.
Bible Study Aids and References
Ekitabo ekinnyonnyola ebyogerwako mu Bayibuli
Ekitabo Insight on the Scriptures kyogera ku bintu nkumi na nkumi ebiri mu Bayibuli. Kyogera ku bantu, ebifo, ebimera, ensolo, ebintu ebyaliwo, n’ebigambo ebimu ebikozesebwa mu Bayibuli. Kisobola okuwanulwa ku mukutu nga kirimu mmaapu, ebifaananyi, n’olukalala olunnyonnyola ebigambo ebikozesebwa mu Bayibuli.
Bayibuli mu Bufunze
Akatabo The Bible—What Is Its Message? mu bufunze kalaga ebyo ebiri mu Bayibuli, era kayamba omuntu okutegeera ensonga esinga obukulu eyogerwako mu Bayibuli.
Akatabo Akalimu Mmaapu z’Ebifo Ebyogerwako mu Bayibuli
Akatabo “Laba Ensi Ennungi” kalimu mmaapu n’ebipande ebiraga ebitundu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli, naddala Ensi Ensuubize mu biseera ebitali bimu.
Ekyawandiikibwa ky’Olunaku
Akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku, kalimu ekyawandiikibwa ekya buli lunaku n’ebigambo ebikyogerako.
Ebibuuzo Bayibuli by’Eddamu
Funa eby’okuddamu mu bibuuzo bye weebuuza ebikwata ku Katonda, Yesu, amaka, okubonaabona n’ebirala.
Layibulale ku Mukutu Gwaffe (opens new window)
Noonyereza ku byogerwako mu Bayibuli ng'okozesa ebitabo by'Abajulirwa ba Yakuwa ebiri ku mukutu guno.
Study the Bible With a Personal Instructor
Enteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’Okuyigiriza Abantu Bayibuli Ebeera Etya?
Mu nteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’okuyigiriza abantu Bayibuli, oyinza okukozesa enkyusa ya Bayibuli yonna gy’oyagala. Oyinza okuyita ab’omu maka go bonna oba mikwano gyo ne bakwegattako.
Saba Omuntu Akukyalire
Mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekikwata ku Bayibuli oba yiga ebisingawo ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.