Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri y’Okufuna Emikwano

Engeri y’Okufuna Emikwano

Wanula:

  1. 1. Oluusi tekiba kyangu—

    Okufuna emikwano.

    Naye Yakuwa atuwa ’magezi

    Ku kye tulin’o kukola:

    (CHORUS)

    Sook’o beere ow’omukwano;

    Yiga okugaba.

    Ofube okulaga

    Nti ofaayo nnyo.

    Olwo ’jja kufuna

    Emikwano egya ddala.

  2. 2. Yakuwa alin’e mikwano

    Egyoleka okwagala.

    Ne bw’obeera nga olina ensonyi

    Saba Yakuwa ’kuyambe.

    (CHORUS)

    Sook’o beere ow’omukwano;

    Yiga okugaba.

    Ofube okulaga

    Nti ofaayo nnyo.

    Olwo ’jja kufuna

    Emikwano egya ddala.