Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Luusi—Ow’Omukwano Owa Ddala

Luusi—Ow’Omukwano Owa Ddala

Wanula:

  1. 1. Nawomi yali afiiriddwa

    abaana be.

    Wadde ne Luusi yalumwa,

    Yamubudaabuda.

    Yamunywererako

    Ng’ow’omukwano ’wa ddala.

    Era yeeyama nti:

    ‘Gy’ogenda, gye ŋŋenda.’

    ‘Gy’ogenda, gye ŋŋenda.’

  2. 2. Bombi baayambagananga

    Mu nnaku yaabwe.

    Yakuwa kyamusanyusa

    ’lw’okumukoppa.

    Naffe tubayigirako

    Eky’okuba ab’ekisa.

    Naffe tugambe nti:

    ‘Gy’ogenda, gye ŋŋenda.’

  3. 3. Nja kuyambanga

    Emikwano

    Egiri mu bwetaavu.

    Nja kwefiirizanga

    Mbabeererewo

    Mu mbeera yonna.

    ‘Gy’ogenda, gye ŋŋenda.’

    ‘Gy’ogenda, gye ŋŋenda.’