By’Olaba Bisiime
Wanula:
1. Tutuddeko wabweru twagal’o kunyumya
Ku bintu Katonda by’atukoledde, nga bwe twot’o muliro.
Kaseera kalungi nnyo kufumiitiriza
Ku birabo—Katonda by’atuwadde—ebituw’e ssanyu.
(CHORUS)
Ebirowoozo byaffe biri ku Yakuwa.
Twagala kufumiitiriza
Ku bintu byonna bye tulaba kubanga
Bisanyusa nnyo.
By’olaba, bisiime.
2. Tulaba ng’omwezi gwaka mu nzikiza ekiro.
Tufuna essanyu mu birabo ebiva eri Kitaffe.
Ne bwe tufun’e bizibu tetubyemalirako.
Tugumiikiriza kuba tumanyi nti Yakuwa ’twagala.
(CHORUS)
Ebirowoozo byaffe biri ku Yakuwa.
Twagala kufumiitiriza
Ku bintu byonna bye tulaba kubanga
Bisanyusa nnyo.
By’olaba bisiime.
Bisiime;
Bisiime nnyo.
(CHORUS)
Ebirowoozo byaffe biri ku Yakuwa.
Twagala kufumiitiriza
Ku bintu byonna bye tulaba kubanga
Bisanyusa nnyo.
By’olaba bisiime.
(ENDING)
Fumiitiriza ku bintw’e birungi;
Bisanyusa nnyo.
Fumiitiriza ku bintw’e birungi
Kubanga bisanyusa nnyo.
By’olaba bisiime.