Obumu Butufuula ba maanyi
Wanula:
(INTRO)
Tuli bantu ba Yakuwa!
Tuwereeza Yakuwa!
1. Kitaffe ali omu
Tufuba okuba obumu.
Tubuulira ’mazima,
Tuweerereza wamu n’essanyu.
(PRE-CHORUS)
Mu buli mbeera,
Tetuba ffekka.
Tukolaganira wamu.
(CHORUS)
Tuli ba luganda, ffenna tussa kimu.
Tuli ba luganda, ffenna tuli bumu.
Tuli ba luganda, tukolera wamu.
Tumanyi nti bwe tuba obumu tubeera ba maanyi.
2. Tuva mu buli ggwanga.
’Nkola y’ebintu tefaanana.
Tufub’o ku’bo bumu,
Tufub’o kukuuma emirembe.
(PRE-CHORUS)
Mu buli ggwanga,
Yonna gy’ogenda
Tulagaŋŋan’o kwagala.
(CHORUS)
Tuli ba luganda, ffenna tussa kimu.
Tuli ba luganda, ffenna tuli bumu.
Tuli ba luganda, tukolera wamu.
Tumanyi nti bwe tuba obumu tubeera ba maanyi.
Tuli ba luganda banywevu.
(CHORUS)
Tuli ba luganda, ffena tussa kimu.
Tuli ba luganda, ffenna tuli bumu.
Tuli ba luganda, tukolera wamu.
Tumanyi nti bwe tuba obumu tubeera ba maanyi.
Ffe tuli banywevu.
Ffe tuli banywevu.