Okubeera mu Mirembe n’Abantu
Wanula:
1. Buli ku makya bwe mba ntambula nneetegereza ’bantu.
Ebizibu bye bayitamu bibamalak’e ssanyu.
Bwe nzijukira nti kikulu nnyo ’kub’o mukkakkamu,
Nsaba Katonda ansobozese okubalag’e kisa.
(CHORUS)
Okubeera mu mirembe n’abantu tekibeera kyangu.
Twonger’o kukikola nga bwe twesunga bwe kiriba mu nsi empya.
2. Nfunamw’o kutya buli lwe ntuuka mu kifo gye nkolera.
Abakozi ku mulimu batera okuyomba.
Mu mbeera ng’ezo nvaawo mangu nnyo ne nneewala okuyomba;
Abantu ng’abo babeera beetaaga okulagibw’e kisa.
(CHORUS)
Okubeera mu mirembe n’abantu tekibeera kyangu.
Twonger’o kukikola nga bwe twesunga bwe kiriba mu nsi empya.
(BRIDGE)
Sikyangu nakamu
Okubeer’o w’enjawulo.
Naye Katonda w’emirembe,
Ajja kkuum’o mutima gwo.
3. Abantw’a bamu be tubuulira babeera bakambwe nnyo.
Basunguwala nnyo ne baswakiira olw’obubaka bwaffe!
Tuvaawo mangu nga tetwagala kukaayana na bantw’a bo.
Ogw’o muliro tuguzikiza bwe tukuum’e mirembe.