Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tube Bamativu

Tube Bamativu

Wanula:

  1. 1. Bangi baagala tukole nnyo,

    Tube mu bulamu obw’omulembe.

    Naye tuyinza okuwugulwa

    Singa twemalira ku ssente.

    (CHORUS)

    Tube bamativu.

    Yakuwa atwagala.

    Tumwesige ffe, atufaako. 

    Yasuubiza nti: 

    ‘Tayinza kutuleka’.

    ’Byetaago byaffe, abimanyi.

  2. 2. Bw’aba ’tuwadde kye tunaalya

    ’Wamu n’engoye ze twambala,

    Era nga tufunye we tusula,

    ‘Tubenga bamativu n’ebyo’.

    (CHORUS)

    Tube bamativu.

    Yakuwa atwagala.

    Tumwesige ffe, atufaako.

    Yasuubiza nti: 

    ‘Tayinza kutuleka’.

    ’Byetaago byaffe, abimanyi.

    (BRIDGE)

    ’Kwagala kwe kungi nnyo.

    Emigugu gyo gimuwe.

    Tayabulira babe.

    Bulijjo tumwesige.

    Kale tumwesige.

  3. 3. Singa twemalira ku Katonda,

    Tuba n’obulamu obw’emirembe.

    ’Bizibu bingi nnyo bye twewala,

    Tuba basanyufu nnyo ddala.

    (CHORUS)

    Tube bamativu.

    Yakuwa atwagala.

    Tumwesige ffe, atufaako.

    Yasuubiza nti: 

    ‘Tayinza kutuleka’.

    Tumwesige ffe.

    (CHORUS)

    Tube bamativu.

    Yakuwa atwagala.

    Tumwesige ffe, atufaako.

    Akakasa nti:  

    ‘Tayinza kutuleka’.

    ’Byetaago byaffe, abimanyi.