Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebintu Ebikulu

Ebintu Ebikulu

Wanula:

  1. 1. Bingi bye tusalawo mu lunaku.

    Twetaag’e biseera by’okuwummula,

    N’okusanyukako n’ab’emikwano.

    Naye waliwo ebising’o bukulu.

    (CHORUS)

    Ebintu eby’omwoyo byetaag’e biseera;

    Bye bisinga obukulu.

    Byemalireko; bikuyamb’o kunywera.

    Tokkiriza kintu kyonna

    ’Kitali kikulu ’kkulemesa

    Okukulembez’e bintu ebikulu.

  2. 2. Bingi bye tulina okukola.

    ’Bintu ebyo biyinza ottuwugula.

    Naye ab’eka batwetaaga

    Era kikulu ddala ’kubeerako nabo.

    (CHORUS)

    Ebintu eby’omwoyo byetaag’e biseera;

    Bye bisinga obukulu.

    Byemalireko; bikuyamb’o kunywera.

    Tokkiriza kintu kyonna

    ’Kitali kikulu ’kkulemesa

    Okukulembez’e bintu ebikulu.

    (CHORUS)

    Ebintu eby’omwoyo byetaag’e biseera;

    Bye bisinga obukulu.

    Byemalireko; bikuyamb’o kunywera.

    Tokkiriza kintu kyonna

    ’Kitali kikulu ’kkulemesa

    Okukulembez’e bintu ebikulu.