Nja Kukuyambanga mu Mbeera Enzibu
Wanula:
1. Abantu bonna
Bafuna emitawaana.
Ebizibu ebitasuubirwa
Bituuka ku bantu bonna.
Kitaffe Yakuwa
Atutegeera bulungi.
Obusobozi bwaffe abumanyi;
Amanyi kye tuli munda.
(PRE-CHORUS)
Ffenna atwagala;
Tewali muntu yenna gw’asosola.
Era ayagala
Naffe twolek’o kwagala.
(CHORUS)
Onnyamba nnyo mu mbeer’e nzibu;
Onjagala nnyo, nange nkwagala.
N’olwekyo
Beera mugumu era mukakafu.
Nti nja kkuyambanga.
Mu mbeer’e nzibu.
2. Tukaabira wamu,
N’abalala abakaaba.
Eby’okwogera biyinz’o ttubula,
Nay’o kukaaba kimala.
(PRE-CHORUS)
Yakuwa ’tuyamba
Ne tusobol’o kugumiikiriza.
Naffe tusobola
Okuyambanga ’balala.
(CHORUS)
Onnyamba nnyo mu mbeer’e nzibu;
Onjagala nnyo, nange nkwagala.
N’olwekyo
Beera mugumu era mukakafu
Nti nja kkuyambanga.
Mu mbeer’e nzibu.
(CHORUS)
Onnyamba nnyo mu mbeer’e nzibu;
Onjagala nnyo, nange nkwagala.
N’olwekyo
Beera mugumu era mukakafu.
Nti nja kkuyambanga
Mu mbeer’e nzibu.