Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nneebaza Yakuwa olw’Ebitonde Bye

Nneebaza Yakuwa olw’Ebitonde Bye

Wanula:

  1. 1. Ebimuli ebya langi ennungi,

    Ensozi empanvu, empewo ekunta,

    Omusana ogutubugumya,

    N’ebyo Ebinyonyi nga bibuuka —

    (PRE-CHORUS)

    Obutonde

    Nga bulungi nnyo!

    Nkirage ntya nze

    Nti nsiim’e bintw’e byo?

    (CHORUS)

    Nze nja kwebazanga,

    Yakuwa bulijjo

    Mu kusaba

    Olw’okutwagala.

    Ntunuulira,

    Bye yatonda ne mbifumitirizaako.

    Byonna bye yatonda birungi.

    Nja kumwebazanga.

    Nja kumwebaza.

  2. 2. Ntunuulira eggulu ne nneewuunya,

    Walitobeka langi ezirirungiya!

    Mpulira emigga nga gikulukuta,

    Mmunyeenye n’omwez’e kiro, byaka—

    (PRE-CHORUS)

    Obutonde

    Nga bulungi nnyo!

    Nnina okulaga

    Nti nsiimira ddala.

    (CHORUS)

    Nze nja kwebazanga

    Yakuwa bulijjo

    Mu kusaba

    Olw’okutwagala.

    Ntunuulira.

    Bye yatonda ne mbifumiitirizaako.

    Byonna bye yatonda birungi..

    Nja kumwegazanga.

    (BRIDGE)

    Engeri zo nze nziraba,

    Ebyo bye watonda,

    Nga bizooleka.

    Kyenva nkwebaza;

    Nja kukwebazanga.

    (CHORUS)

    Nze nja kwebazanga,

    Yakuwa bulijjo

    Mu kusaba

    Olw’okutwagala.

    Ntunuulira

    Bye yatonda ne mbifumitirizaako.

    Byonna bye yatonda birungi.

    Nja kumwebazanga.

    Nja kumwebazanga.

    Tulin’omwebaza.