Sonyiwanga
Wanula:
1. Obulumi bwe nnina bungi.
Era ekiruyi kindi ku mutima
Kuba mpisiddwa bubi nnyo.
Nkimanyi nti nnin’o ’ssonyiwa
Nay’o ’lw’okuba si nze nnasobya
Ekyo kinkaluubirira nnyo.
(PRE-CHORUS)
Ye nsonga lwaki nnin’o ’kusaba.
Yakuwa ’laba byonna bye mpitamu.
Abimanyi bulungi
(CHORUS)
Aa ampa ’maanyi
Nsobole okusonyiwa.
Nsaba Yakuwa nnyamba nze;
Nnyamba nze nsonyiwe.
Nnyamba nze nkukoppe
Mbe mwetegefu okusonyiwa.
Nsaba Yakuwa nnyamba nze;
Nnyamba nze nsonyiwe.
Nsonyiwenga.
2. Wadde nfuba okkyerabira,
Nneesanga nkirowoozezzaako
Naye si bwe kirin’o ’kuba.
Nkimanyi nti nnin’o ’ssonyiwa..
Sisaanidde kusiba kiruyi.
Si kyangu okukyeggyamu.
(PRE-CHORUS)
Ye nsonga lwaki nnin’o ’kusaba.
Yakuwa ’laba byonna bye mpitamu.
Abimanyi bulungi.
(CHORUS)
Aa ampa ’maanyi
Nsobole okusonyiwa.
Nsaba Yakuwa nnyamba nze;
Nnyamba nze nsonyiwe.
Nnyamba nze nkukoppe
Mbe mwetegefu okusonyiwa.
Nsaba Yakuwa nnyamba nze;
Nnyamba nze nsonyiwe.
Nsonyiwenga.
Nsonyiwenga.
Nsonyiwenga.
Nsonyiwenga.