Tuli Baganda Bammwe
Wanula:
1. Tutuuse mu nsi endala
Era gye tuva wala nnyo.
Tukirabye nti
Mu bintu byonna
Yakuwa ’badde naffe.
Tukol’o mulimu gwa Yakuwa,
Wadde nga ggwo si mwangu.
Tulin’o luganda olwa nnamaddala.
Kyetuva tugamba:
(CHORUS)
Ffe tuli ba luganda
Kubanga twagalana nnyo.
Tuva mu nsi za njawulo,
Nay’e ra
Twagalana nnyo.
2. Bwe twali tuva mu nnyonyi,
Mwatwaniriza n’essanyu.
Olukuŋŋaana bwe lwatandika
Mwatufaako nnyo ddala.
Ettendo lidde eri Yakuwa
Atuwadde ’nkiz’e no.
Tujja kumwagala n’okumutendereza
Emirembe gyonna.
(CHORUS)
Ffe tuli ba luganda
Kubanga twagalana nnyo.
Tuva mu nsi za njawulo,
Nay’e ra.
Twagalana nnyo.
3. Tujjidde mu nnyonyi era
Tutuuse mu nsi endala.
Abantu baayo bawombeefu nnyo;
Tujja kubabuulira.
Ne baganda baffe batwagala
Batufaako nnyo ddala.
Yonna gye tubeera tuba n’emikwano
Era twagalana!
(BRIDGE)
Emikwano
Mingi gye tulina mu nsi nnyingi nnyo:
E Kenya n’e Mexico,
E Japan n’e Jamaica.
(CHORUS)
Ffe tuli ba luganda
Kubanga twagalana nnyo.
Tuva mu nsi za njawulo
Nay’e ra
Twagalana nnyo.
Tuli ba langi nnyingi
Nay’e ra twagalana nnyo.
Okwagala kwe twoleka
Abantu bonna bakulaba!
Rwanda, Buyindi, ne Bugirimaani;
Yitale, Ghana, ne Korea;
Amerika, Canada, ne Sudaani.
Mmwe mmwenna tubaagala nnyo.