OLUYIMBA 101
Okukolera Awamu nga Tuli Bumu
-
1. Yakuwa ’tukuŋŋaanyizza;
Tufuuse ’bantu be ffenna.
Tuli wamu mu mirembe;
Tuli basanyufu.
Obumu bulungi;
Tubwagala nnyo.
Katonda ’tuyigiriza
’Kuyitira mu Mwana we.
Ka tubenga bawulize,
Tukuume nnyo ’bumu.
-
2. Obumu bwe tubusaba
Era ne tuba ba kisa,
Okwagala kweyongera
’Wamu n’emirembe.
’Mirembe gyagalwa;
Gisanyusa nnyo.
Bwe tubeera n’okwagala
Katonda ajja kutuwa
Emirembe, tube bumu
Nga tumuweereza.
(Laba ne Mi. 2:12; Zef. 3:9; 1 Kol. 1:10.)