Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 116

Okulaga Abalala Ekisa

Okulaga Abalala Ekisa

(Abeefeso 4:32)

  1. 1. Tukutendereza nnyo Yakuwa

    Olw’okwagala kwo.

    Wadde olina ’maanyi ga nsusso

    Era oli wa kisa nnyo.

  2. 2. Omwana wo ayita ’bakooye

    Bonna bajje gy’ali.

    ’Kikoligo kye tekizitowa;

    Wa kisa, ’zzaamu amaanyi.

  3. 3. Yakuwa ne Yesu bataddewo

    ’Kyokulabirako.

    Kale tusobola okukoppa

    Ekisa kyabwe ’ky’ensusso.