OLUYIMBA 116
Okulaga Abalala Ekisa
-
1. Tukutendereza nnyo Yakuwa
Olw’okwagala kwo.
Wadde olina ’maanyi ga nsusso
Era oli wa kisa nnyo.
-
2. Omwana wo ayita ’bakooye
Bonna bajje gy’ali.
’Kikoligo kye tekizitowa;
Wa kisa, ’zzaamu amaanyi.
-
3. Yakuwa ne Yesu bataddewo
’Kyokulabirako.
Kale tusobola okukoppa
Ekisa kyabwe ’ky’ensusso.
(Laba ne Mi. 6:8; Mat. 11:28-30; Bak. 3:12; 1 Peet. 2:3.)